TOP

Luswata akomyewo ku Urban TV

By Musasi wa Bukedde

Added 12th October 2018

BW’OYOGERA ku Mary Luswata, ebirowoozo biddukira ku pulogolaamu y’olugambo eya ‘Scoop on Scoop’ gye yakolanga ku Urban TV.

Luswata 703x422

Luswata

Oluvannyuma lw’emyaka esatu ng’avudde ku ttivvi, abawagizi be babadde beebuuza kyaliko. W’osomera bino ng’akomyewo ku Urban TV n’olugambo olwokya n’asekerera ababadde balowooza nti yaggwaamu.

Mu nteekateeka empya ekoleddwa, Luswata addamu okuweereza ku Urban TV ku Ssande nga October 14.

Agenda kuweereza pulogulaamu ya ‘Saloon Talk’ buli Ssande okuva ku ssaawa 3:00 ez’ekiro okutuuka ku 4:00.

Twayogedde naye ku nsonga ez’enjawulo okuli pulogulaamu ye empya ne famire n’atugamba bwati:

Kulikayo gy’obadde?

Nkomyewo era ndi bulungi.

Lwaki okomyewo ku Urabn TV?

Urban Tv ye yanfuula kyendi kubanga banzikiririzaamu ne bampa omulimu ate pulogulaamu gye bampa n’enkolera bulungi. Vision Group yafuuka famire yange era we bampitira okukola nsitukiramu.

Ate abalowooza nti ensi emaze kukuba buggo okudda?

Nze Luswata ensi tesobola kunnyiga, ate abo abalowooza batyo kirabika baludde okundaba naye beesirikire mbaleetedde ‘waaka’.

Obadde wa era ng’okola ki?

Mbadde mu ggwanga nga nkola ku Galaxy Fm ne Coco Studio yampa omulimu.

Abalabi ba Urban basuubire ki ekipya?

Bingi era babeere ku TV ku Ssande balabe ebipya bye ndeese.

Saloon Talk kitegeeza ki?

Pulogulaamu ekwata ku lugambo olukwata ku bassereebu baffe olwokya.

Naye abayimbi baali bakwekokkola nti obavuma kati ogenda kukikola otya?

Oli bw’awulira nga mwogeddeko ekitali kituufu oba namwogerako ebikyamu mu pulogulaamu empya nkuwadde omukisa okutangaaza oba okutuwa oludda lwo.

Omuntu ayagala okujja ku ‘Saloon talk’ akola atya?

Tutuukirire ku Urabn Tv ku kitebe kya Vision Group oba tuwandiikire ng’oyita ku mikutu gya Urban Tv egya yintanenti.

Simanyi okyali nnakawere?

Obuuza kuseka! Nkyali nnyo kuba bbebi akyali wa myezi esatu.

Oli mufumbo era oyo mwana wa kumeka?

Ndi mufumbo ono omwana waakubiri. Mbuulira ku mannya ga taata w’abaana. Hahaha…..ebikwatagana n’omwami wange tubireke.

Oyagala banzibire omusajja?

Ekirungi muntu nga ggwe.

Biki ebikunyiiza n’okukusanyusa ku bayimbi?

Omuntu okukola ekintu n’okyogerako ate ne yeefuula n’okulaga nti akunyigidde kyokka nga by’omwogeddeko bituufu.

Biki ebyo bye batamanyi ku Luswata?

Ndi mukyala muzadde, atya Katonda, ndi mukkakkamu era wadde manyiddwa ng’omuntu anyumirwa nnyo okukuuma obulamu bwange obwa famire nga bwa kyama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...

Fit11 220x290

Omuliro oguvudde ku masannyalaze...

Omuliro oguvudde ku masannyalaze gusaanyizzaawo emmaali y'omusuubuzi mu kibuga