TOP

Ebigambo by’abantu tebisobola kunzigya ku muziki - Chamilli

By Martin Ndijjo

Added 7th December 2018

NG’AJAGUZA emyaka egisoba mu 20 ng’akuba omuziki, Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone agamba nti Katonda yekka y’amanyi ddi lw’aliva ku kuyimba so si bigambo by’abantu nga bwe bamwogerera.

20155largeimg228may2015164136033703422 703x422

Jose Chameleon

Leero Chameleone ategese ekivvulu ky’atuumye ‘Legend Saba Saba Concert’ ku Lugogo Cricket Oval. Okuyingira 20,000/- ne 100,000/-.

Kyokka waliwo abagamba nti okukola ekivvulu kino kiringa eky’omwaka oguwedde ekya ‘Legend hit after hit’ akabonero akalaga nti takyalina kipya kubanga babadde bamusuubira okubeera n’oluyimba olwokya lw’atambulirako.

Mu kwanukula, Chameleone yagambye nti, “eddaala kwendi sikyali muyimbi wa kutongoza luyimba.

Kino nkikoledde ebbanga ate buli luyimba lwe nfulumya lubeera hiiti.

Kati nasigaza kutegeka bivvulu kujaguliza wamu n’abawagizi bange era mwena mujje mu Saba Saba tunyumirwe. Yagasseeko nti, ‘‘abayimbi n’abawagizi bagwanidde okumpa ekitiibwa n’okunsiima olw’ebirungi ate ebingi bye nkoledde ensiike y’okuyimba omuli okukyusa myuziki wa Uganda ne mu mawanga g’omu buvanjuba bwa Africa era numwa abaana abato okumpalampa ne beerabira nti Chameleone nze jjinja buli muyimbi kwe yeepimira ate sirina gyendaga kubanga nkyaliwo era nkyabavuga’’.

Ku ky’abayimbi okuyingira ebyobufuzi, yagambye nti ebyobufuzi kuyitibwa kyokka tasobola kusala French Cut lwakuba ye sitayiro buli omu gy’asala.

Ku bamupima ku muyimbi Omutanzania Diamond Platnumz, yagambye nti ono muyimbi wa ttivvi ate ye muyimbi wa ku siteegi.

Yayongeddeko nti wadde Diamond w’amaanyi, tamusinga. Nze ndi muntu omu akola ku buli kimu okumala ebbanga lino lyonna naye Diamond akola ne ttiimu y’abantu abamukolera kumpi buli kimu n’okumukubira pokoppoko.

Ku by’okugenda ewa Paasita Kayanja, Chameleone agamba nti teyagendayo kulokoka wabula kusinza kubanga ye musajja Mukatoliki era abaddeko ne mu masinzizo amalala.

Ku by’obulamu obw’omu maaso, yagambye nti alima, okulunda, azimba bbaala era alina mukwano gwe gw’agenda okukola naye leediyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono