TOP

Ebyayambye Abenakyo okussaawo likodi mu mpaka za Miss World

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2018

NNALULUNGI wa Uganda Quiin Abenakyo atikkiddwa engule ya Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika mu mpaka za Nnalulungi w’ensi yonna (Miss World) mwe yakoledde likodi bwe yakutte ekyokusatu.

Manya1 703x422

Abenakyo 22, afuuse Munnayuganda asoose mu byafaayo by’empaka za Miss World okumalira mu bawala abasatu abasinga obulungi nga yabuzeeko katono okutikkirwa engule ya ‘Miss World 2018’.

Mwanamuwala Abenakyo, enzaalwa y’e Mayuge mu Busoga, ataddewo ekyafaayo nga Munnayuganda asoose okuwangula engule eya ‘Miss World – Africa’.

Abamu baalaze nti akutte Kyakusatu kyokka abategeka Miss Uganda aba Kezzi Enterteinment ne balaga nti yakutte Kyakuna, wabula emikutu emirala ne giraga nti yakutte Kyakutaano.

Kino kyavudde ku bategesi ba Miss World okulangirirako abantu babiri bokka kw’abo abataano abaabadde bayiseemu.

Kino tekikomye ku kutunda kifaananyi kya Uganda mu nsi yonna wabula n’okutangaaza emikisa gya Abenakyo okufuna ensimbi n’ettuttumu ery’enjawulo mu Afrika n’ensi yonna.

Empaka za Miss World 2018’, nga ze z’omulundi ogwa 68 zaakomekkerezeddwa ku Lwomukaaga abawala bataano abasingayo obubalagavu mu nsi yonna bwe babbinkanye mu kwolesa obulungi, emisono, n’amagezi okulondako Nnalulungi w’ensi yonna ow’omwaka 2018.

Abenakyo, yalese Abazungu bamunyezeza mitwe olw’engeri bakira gy’addamu ebibuuzo n’amagezi amayitirivu nga kuno kwe yagasse obuwagizi obungi bwe yafunye mu balonzi abaamuyiiridde obululu ku yintaneeti.

Vanessa Ponce De Leon enzaalwa ya Mexico ye yakutte ekisooka, Limsnukan Nicolene enzaalwa ya Thailand n’ekwata ekyokubiri ate Abenakyo owa Uganda n’akwata ekyokusatu.

Empaka zino zaayindidde mu kibuga Sanya ekya China nga zaakulungudde wiiki nnamba ng’abategese basunsula mu bawala 188 abalungi kaalaala okulonda ‘Miss Word 2018’.

EBYAWANGUZZA QUIIN

Abenakyo okuyitamu, azze awangula abawala okuva mu mawanga amalala nga yasooka kumegga Nnalulungi wa Argentine ne yeesogga olw’olwokaano lw’abawala 30 era awo wonna n’ayitamu okutuuka mu bawala abataano abasingayo obulungi mu nsi yonna.

Azze awangula olw’engeri ey’amagezi n’obwongo gy’abadde ayanukula ebibuuzo n’okwennyonnyolako ebintu by’akola mu Uganda.

Pulojekiti ye ey’okuyamba abaana abawala abafuna embuto nga bakyali mu myaka emito yakutte omubabiro abategesi be yannyonnyodde nti mu Uganda kizibu kinene aky’abaana abato abafuna embuto nga tebannatuuka myaka 18 nga ku buli baana abawala 5 abatannaweza myaka wakati w’emyaka 14- 19, omu alina olubuto oba yazaalako.

Mu kuwangula engule ya Nnalungi wa Afrika, Abenakyo yawangudde Nnalulungi wa Mauritius, Murielle Ravina n’akola likodi. banna lulungi mu bitundu Afrika: Quiin Abenakyo (Uganda) Amerika: Solaris Barba (Panama) Asia: Nicolene Limsnukan (Thailand ) Caribbean: Kadijah Robinson (Jamaica) Bulaaya: Maria Vasilevich (Belarus) Oceania: Jessica Tyson (New Zealand).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nyiga1 220x290

Ensi egudde eddalu: Abeebyokwerinda...

TWABADDE tukyewuunya abakulira ekitongole kya ISO okulemesa ababaka ba Palamenti okulambula amakomera ag’ekimpatiira,...

Kiwa 220x290

‘Omwana ayagala okutwala ebyange...

JORDAN Ssebuliba Kiwanuka 40, atabuse lwa byabugagga bya kitaawe Mohan Kiwanuka Musisi 69, n’atuuka n’okukimuteekako...

Kolayo1 220x290

Supreme Mufti avumiridde 'safe...

SUPREME Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa avumiridde ebifo ebitali mu mateeka omusibirwa abantu by’ayogeddeko ng’ebiwa...

Walk 220x290

Batankanye enfa ya Bannayuganda...

POLIISI ebakanye n’okunoonyereza ku gimu ku mirambo gya Bannayuganda egyakomezeddwaawo okuva mu Buwarabu gye bafi...

Title 220x290

Kayihura bamutaddeko nnatti obutalinnya...

GAVUMENTI ya Amerika eweze eyali omuduumizi wa poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura okulinnya ekigere mu ggwanga...