TOP
  • Home
  • Sanyuka Ne wiikendi
  • Olutalo lwa Chameleon ne Balam lusajjuse: Siddamu kukolagana naye okuggyako nga yeetondedde Minisita Nankabirwa'

Olutalo lwa Chameleon ne Balam lusajjuse: Siddamu kukolagana naye okuggyako nga yeetondedde Minisita Nankabirwa'

By Martin Ndijjo

Added 19th December 2018

OMUTEGESI w’ebivvulu, Balaam Barugahara amanyiddwa nga Ssaabavvulu alayidde obutaddamu kukolagana n’omuyimbi Jose Chameleone okuggyako nga yeetondedde Minisita Ruth Nankabirwa.

Me 703x422

SAAGALA MUNTU AYISA MU BANTU BAKULU MAASO: Balaam ng’aliko byannyonnyola. Jose Chameleone ng’akuba omuziki ku Sheraton. Eno Balaam yamugobyeyo.

Olutalo wakati wa Balaam ne Chameleone lwongedde okusajjuka ekiviiriddeko Balaam okuggya Chameleone ku lukalala lw’abayimbi abagenda okuyimba ku bivvulu by’ategese mu ggandaalo lya Ssekukkulu.

Kino Chameleone olukitegedde naye n’atandika okupika ebivvulu bya bapulomoota abalala abamusasudde okubakolera.

Ebivvulu ebisinze okwogeza abantu ne batuuka n’okugamba nti embiranye yeeyongedde by’ebivvulu bya December 31.

Balaam ye yasoose okuteekayo obubaka ku mukutu gwe ogwa Face book ng’ayita abantu okweyiwa ku Sheraton n’ayongerako nti ng’oggyeeko okubayingiza mu mwaka, ku kivvulu kye kimu agenda kutongoza leediyo ye oluvannyuma lw’okulemesebwa Chameleone ku kivvulu ekyabadde ku Cricket Oval e Lugogo gye buvuddeko.

Amangu ddala ne Chameleone yagenze ku mukutu gwe n’ateekayo obubaka ng’ayita abantu okugenda e Kololo gy’agenda okubeera ng’agamba nti ye patte yokka eri mu kibuga ekiro ekyo.

Obutakkaanya wakati w’ababiri bano abamanyiddwa nga ab’omukwano era nga Balaam y’azze ategeka ebivvulu bya Chameleone, bwasoose kweyolekera mu kivvulu kya Chamleone ekya Saba Saba ekyabadde e Lugogo Chameleone bwe yalemesezza Minisita Ruth Nankabirwa okwogera n’amusikako akazindaalo.

Minisita yayitibwa Balaam ng’omugenyi omukulu akole n’omukolo gw’okuggulawo leediyo ye.

“Sisobola kusonyiwa Chameleone era sigenda kuddamu kukolagana naye okuggyako ng’amaze okwetondera minisita Nankabirwa kwekyo kye yakola.

Guno si gwe mulundi ogusoose nga Chameleone anyiiza naye ku luno yayiseewo nnyo. Nze saagala muntu ayisa mu bantu bakulu maaso.

Chameleone atuuka atya okulengezza Minisita mukwano gwange? Nga tutegeka ekivvulu namugamba nti minisita agenda kwogerera eddakiika 10 kyokka yali yaakoogerera eddakiika ssatu n’amusikako akazindaalo.

Bw’aba alina obuzibu ne Minisita lwaki teyahhamba nze eyamuyita ne njogera naye.

Okuggyako nga Chameleone asituse n’agenda mu maaso ga minisita n’amwetondera oba okuwandiika ebbaluwa n’ateekako omukono gwe nga yeetonda sigenda kumusonyiwa ate ebyo eby’okwetondera ku Face book nga bwe yakoze nabigaanyi kubanga teyamuweebulira ku Face book,” Balaam eyabadde ayogeza obusungu mu ddoboozi eddene bwe yagambye.

BALAAM SIMULINAAKO MUTAWAANA - CHAMELEONE

Wabula Chamleone bwe yabuuziddwa ku nsonga eno n’endala eyinza okuba nga ye yamutabudde ne Balaam yagaanyi okubaako eky’amaanyi ky’ayogera.

Yagambye nti “nze Balaam simulinaako buzibu, kyoyagala okumanya kyonna kibuuze Balaam”.

Balaam era agamba nti okukola leediyo kirabika tekyasanyusizza Chameleone kwe kusalawo okutaataaganya enteekateeka ze ez’okugitongoza era abadde agenda ayogera mu bantu nga naye (Chamleone) bw’agenda okukola leediyo ky’agamba nti abadde akikola kubuzaabuza bantu n’okubaggya ku mulamwa gwa leediyo ye.

Balaam ne Chameleone bamaze emyaka egisoba mu 12 nga bakolagana ng’era Balaam y’ategeka ebivvulu bya Chameleone ebinene nga n’ebivvulu bye yasooka ku lukalala lw’abayimbi.

Balaam yatuuse n’okugamba nti bwe kinaaba kyetaagisa ajja kusaba Chameleone amusasule ssente ze zonna z’amubanja mu kaasi nga si bya kuyimba kubanga akooye okukolagana n’abantu abasiiwuufu b’empisa.

Ng’oggyeeko ekivvulu kya Cricket Oval n’e Jinja, Balaam yagaanyi okugenda ku bivvulu ebirala Chamleone bye yayimbyeko e Lyantonde, Mbarara ne Masaka era eno yasindiseeyo muyambi we, Bulayimu Mwanje okusolooza ssente.

Chameleone ateekateeka kusen gukira mu Amerika? Ensonda zategeezezza nga Chameleone bw’amaliriza enteekateeka z’okusengukira mu ggwanga lya Amerika okubeera eyo.

Kigambibwa ono yasoose kutwala mukyala we Daniella n’abaana be abali mu Minnesota mu Amerika.

Omu ku mikwano gya famire ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti pulaani eno Chameleone aludde nayo era y’ensonga lwaki omwaka oguwedde yatwala mukyala we okuzaalira mu Amerika.

Wabula Chameleone bwe yabuuziddwa ku nteekateeka eno yabiwakanyizza n’ategeeza nti wadde kituufu omukyala n’abaana bali mu Amerika baagenda kuwummulako era bakomawo.

“Simanyi aboogera ebintu ebyo gye babigya naye oyo wolokoso w’abantu. Daniella yagenda kuwummulako n’abaana era bakomawo nange wendi Uganda y’ensi yange sirina walala gye ndaga.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...