TOP

Gavumenti ereeta amateeka amakakali ku bayimbi ne bannakatemba

By Martin Ndijjo

Added 18th January 2019

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga bagamba nti gagendereddwamu kubalemesa kukola ate abalala bagayise ga byabufuzi ebiyingiziddwa mu mulimu gwabwe.

Panta 703x422

Andrew Benon Kibuuka

Kyokka waliwo abagawagidde nga bagamba nti gagenda kubayamba okutereeza enzirukanya y’omulimu gwabwe n’okukola ku bakiwagi.

Minisitule y’ekikula ky’abantu n’abakozi, eri mu kubaga mateeka okukola ennongoosereza mu mateeka agafuga abayiiya, abayimbi, abazannyi ba firimu ne bannakatemba aganaalung’amye emirimu gino.

Ku Lwokusatu waabaddewo akasattiro abayimbi bwe baagudde ku gamu ku mateeka gano agali mu bbago ne batandika okwecwacwana nga bagamba nti gakoleddwa mu busungu ng’era bagaleese lwa Bobi Wine n’abayimbi abalala abagwa mu kiti kye nga gavumenti eyagala okubanafuya.

Wabula Andrew Benon Kibuuka akulira ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba era omu ku bazze batuula mu nkiiko ez’enjawulo ezikubaganya ebirowoozo ku bbago lino yasabye abayimbi okukkakkana bakolere wamu okulaba nga bawaayo endowooza yaabwe ne kye baagala kubanga gano tegannaba kufuuka mateeka wabula bbago.

Agamu ku mateeka

  1. Wajja kuteekebwawo olukiiko olusunsula n’okuyita mu biyiiyiziddwa n’okukwasisa empisa.
  2. Omuyimbi akozesa ebiragalalagala ajja kuba azizza musango.
  3. Tewali muyimbi ajja kukkirizibwa kuyimba bweru wa ggwanga nga tamaze kufuna lukusa okuva mu minisitule.
  4. Tewali muyimbi agenda kukkirizibwa kukwata vidiyo nga tamaze kufuna lukusa okuva mu minisitule.
  5. Omuyimbi ojja kusooka kufuna layisinsi okukola omulimu guno.
  6. Gujja kuba musango okuyimba mu bivvulu oba mu lujjudde nga tofunye layisinsi okuva mu minisitule.
  7. Omuyimbi tajja kukkirizibwa kuyimba mu bifo ebisukka mu kimu nga tewannayita ssaawa nnya.
  8. Omuyimbi ayambadde mu mbeera eyeesittaza tajja kukkirizibwa kulinnya ku siteegi. Buli mutegesi w’ekivvulu alina okuteekawo eby’obujjanjabi ebisookerwako eri abayimbi ku kivvulu.
  9. Omuyimbi aneewaggula n’ayimba ebweru nga tafunye lukusa layisinsi ye ejja kusazibwamu.
  10. Buli muyimbi ajja kuwandisanga ennyimba ze mu minisitule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte