TOP

Mesach akaabira maama w’abaana adde awaka afumbe

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2019

MUNNANGE komawo, komawo eka ofumbe, nzikkirizza nakusobya naye mukwano nneetonze obw’omu buluma, obw’omu bubowa, enju etama. Munnange nzikkirizza nagwa mu kitimba, abayaaye bannimba ate emikwano tegyandabula ne nsuulawo caayi ow’amata ne nywa caayi mukalu...naye nga mbikooye.

Pata 703x422

Mesach Ssemakula

Buno obuwala bwannimba maama, nagwirana na ffeesi na bubina naye obwongo saabala bwo bw’abala nsimbi na kucakala laavu bwagita, nkumisinga kubanga bukya ogenda ebyange byatawaana naye komawo....

Ebigambo ebyo bye bimu ku biri mu luyimba lwa Mesach Ssemakula ‘‘Nakola bubi’’ nga yeetondera mukyala we eyamunobako olw’empisa ze ensiiwuufu n’amalala.

Kyokka abamu olwaluwulidde ne batandika okwewuunaganya nti maama w’abaana be yanoba oba ayimbye ku mbeera ebeera mu maka g’abafumbo? Oluyimba luno Mesach alugasse ku ndala nga ‘Bwagamba’ olukwata ku gyenvudde we ne ‘Jangu eno’ zaafulumizza nga yeetegekera ekivvulu kye ‘‘Bwagamba Experience My Journey Episode 2’’ ekigenda okubaawo mu June omwaka guno.

Mesach alaga okulumwa omusajja kwayitamu nga mukyala we amunobyeko n’atuuka n’okuwoza nti ekisenge kirimu enzikiza, emmere tekyamuwoomera, by’ayambala tebikyanyuma nga n’ensiri zimuluma yekka.

Atuuka n’ekiseera ne yeekubagiza ng’ajjukira amaziga mukyala we ge yakaabanga, nnaakogga n’aggwaawo ng’ate ye yali yingini ya mmotoka ye (omusajja) nga kati yakwaama anti obuwala bwe yakwananga bumaze okumulyako ssente abunoonya tabulaba.

Ono amaze emyaka egisukka mu 20 ng’akubira Bannayuganda omuziki era y’omu ku bayimbi abakwatiridde myuziki wa Bandi nga ne banne baamukazaako lya Golden Papa era omu ku badayirekita ba Golden Band.

Ennyimba zino yamaze okuzikolera vidiyo nga zikubibwa ku leediyo ne Bukedde TV. Mesach Ssemakula yagambye nti oluyimba luno luyinza okuba nga terumukwatako ng’omuntu naye abasajja bangi bamanyi okwecangira ku bakyala baabwe ne babatulugunya kyokka bwe bamala okubaddukako ne balaba omugaso gwabwe.

Ono ye yakuba ennyimba nga ‘‘Abakazi abaguma, Kankutendereze, Si ggwe onsimira, Kulika Baby, Kannyimbire Omutanda’’ n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Babirye1 220x290

Judith Babirye oluzadde kitaawe...

TAATA w’omuyimbi Judith Ba­birye akakasizza nga muwala we bwe yamutumidde okumutegeeza amawulire ag’essanyu nga...

Gd 220x290

Siyinza kuva mu ofiisi ya KCCA...

Kitaka yakedde mu ofiisi ye ku Mmande gye yavudde n’agenda ku mukolo gye yasanze Loodi Meeya Erias Lukwago kyokka...

Mbappe agenda mu Real Madrid

Real Madrid eri mu ssanyu olwa maama wa Kylian Mbappe, okutegeeza nga mutabani we bw’atajja kussa mukono ku ndagaano...

Thumbnailwalesbalecelebration 220x290

Gareth Bale yeerinde obusunga bw'abawagizi...

Nga tafudde ku bya kunyiiza bawagizi ba Real Madrid, essanyu lya Wales okuyitamu okuzannya empaka za Bulaaya (Euro...

Mourinhowasattractedbythequalityofthespurssquad 220x290

Mourinho alangiriddwa ku gw'okutendeka...

Kyaddaaki ssentebe wa Tottenham (Spurs), Daniel Levy yakutte ku mmanduso n’agoba omutendesi Mauricio Pochettino...