TOP

Engeri abantu gye beeyiwa e Mulungu okulya obulamu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th March 2019

ONOONYA ssanyu lya ku nsi erikyakubuze? Olina situleesi oba ensi ekuzimbiridde. Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa pikipiki gisambe naawe ow’ebigere nnoonya takisi ezikutuusa ku mwalo gw’e Mulungu.

Mulungu35new 703x422

Abamu ku badigize nga balya ssente e Mulungo

ONOONYA ssanyu lya ku nsi erikyakubuze? Olina situleesi oba ensi ekuzimbiridde. Alina mmotoka gikube ekisumuluzo, owa pikipiki gisambe naawe ow’ebigere nnoonya takisi ezikutuusa ku mwalo gw’e Mulungu.    


Abadigize aba buli kika omuli: abaana, abavubuka, abakadde, bataata ne bamaama, abagagga ba V8 n’abaavu aba ssapatu eno gy’obasanga. Kyokka n’abawuulu babeerayo mu bungi nga banoonya zi sure soma ssuwa oba win soma wiini ekitegeeza nti emikisa gyabwe giri 90 ku 100 okufuna ababawa  essanyu.


Bw’oba otambula, ovuga mmotoka yo oba ddigi n’osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’ ebitukula obirengera teweetaaga kubuuza. Omanya bumanya nti onaatera okutuuka ku mwalo gw’amasanyu abamu gwe baakazizzaako ‘‘Omwalo maseeyeeye’’.


Bw’ogendayo ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano otambula bulungi nga tewali akukoonako kyokka ku wiikendi kisukka. Akalippagano kakwata ab’emmotoka n’ebigere olw’omujjuzo gw’abayingira n’abafuluma. Awandibadde omulyango oguyingira baasibawo akaguwa we basolooleza.

EBIRALA BISANGE MU Ssanyuka ne wiikendi w'Olwokutaano P11,12 NE 13

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Toll 220x290

Embeera ya Tamale Mirundi: Abasawo...

ABASAWO abamaze wiiki nga bajjanjaba Tamale Mirundi bamuzuddemu omusujja gw’omu byenda (Typhoid) ssaako n’obuzibu...

Abapya 220x290

Mmengo n'Abasiraamu bakukkulumye...

MMENGO eyogedde ku nkyukakyuka Pulezidenti Museveni ze yakoze mu baminisita n’egamba nti Bannayuganda bajja kusanyuka...

Yiwayiwa1 220x290

Eyawambye abaana 3 asabye ssente...

EYAWAMBYE abaana basatu e Kiboga n’asaba ssente, abazadde bazimuwadde kyokka n’abasala obulago emirambo n’agisuula...

Rugbyweb 220x290

Aba rugby ekisaawe tekibalemesa...

Hima Cement Heathens ewangudde Makerere Impis ne yeeywereza ku ntikko

Arteta 220x290

Tetujja kulemesa Arteta kwegatta...

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi muggya anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero ya November.