TOP

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba: Beerangidde ebisongovu

By Martin Ndijjo

Added 23rd March 2019

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi mu bantu lwongedde okulanda.

The 703x422

Sheebah ne Cindy

Cindy eyeeyita Kabaka mu kuba emiziki (King herself) atuuse n’okugamba Queen Sheebah owa Team No Sleep (TNS) nti bw’aba nga ddala omuziki agwewulira era alowooza amusobola bategeke ekivvulu ky’ababiri (battle) zaabike emipiira.

Ababiri bano okutuuka okuva mu mbeera, kyaddiridde Cindy okusooka okunafuya Sheebah bwe yabadde amwogerako n’agamba nti wadde muyimbi mulungi, akyalina olugendo luwanvu kuba yamulaba ku konsati ye (eya Sheebah) gye buvuddeko ku Africana ng’avuya era abawagizi be beetaaga okumuwa obudde okuyiga ayongere okutereeza.

Yayongeddeko nti “Sheebah bwaba ayagala, nze ng’omusomesa era mukulu we mu kuyimba ndi mwetegefu okumuyigiriza naddala okuyimba ‘layivu’ kubanga kuno kumutawaanya nnyo.

Ebigambo bya Cindy bino olwagudde mu matu ga Sheebah naye n’amwa-mbalira. “Ndi mukyala wa bikolwa ebigambo nnina bitono. Nga bw’ayagala okunjigiriza okuyimba nange ajje muyiseeko e Munyonyo gye nzimbye tunoonye ne ku bupulooti osanga buli omu anaayamba munne waatasobola.

Njagala akakase nti okuyimba kw’ayagala okunjigiriza ndabika nkufunyeemu okumusinga.

Omanyi nze nsirika nnyo naye okusirika siri musiru” Ebigambo bya Sheebah ate Cindy yabirabye nga eby’okumulangira okuba omwavu kwe kumuddamu nti okuyimba nange nkufunyemu bingi.

Nga bwe nteekateeka okuzimba amaka g’ekirooto kyange, nze ne baganda bange tusobodde okuzimbira maama waffe amaka mu kyalo e Mbale n’e Munyonyo ate ndi bbosi nnina ttiimu y’abantu 15 be nkozesa mu kuyimba era mbasasula.

Siyinza kumuwaana ng’abulamu- Cindy

“Nkimanyi amazima gakaawa. Sheebah simulinaako buzibu okuggyako njagadde kwawukanako n’abakola ogw’okumuwaana obuwaanyi nga mubuulira ekituufu nti ekintu kye kibulamu.

Omulamwa tuli ku gwa kuyimba kuba ennyumba gye yeewaana nayo tagenda kugireeta ku siteegi kuyimba nayo.

Ani amugambye nti nze sigenda kuzimba olaba n’aba bodaboda ku siteegi yaffe bazimba.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte