TOP

By'obadde tomanyi ku muyimbi John Blaq aliko akaco kano

By Martin Ndijjo

Added 17th May 2019

Amannya ge ye John Kasadha 22. Mutabani w’Omw. Musa Waiswa Zidoolo ow’e Iganga ne Annet Nabirye ow’e Jinja.

Johnblaq 703x422

Mmotoka ya John Blaq gye yeeyiyeemu.

Yasomera Rwanda PS e Jinja, Hassan Tourabi PS e Bweyogerere ate siniya n’agisomera ku Hassan Tourabi SS kati emanyiddwa nga Bweyogerere SS.

Asula Butto- Bweyogerere, si mufumbo era tanoonya. Agamba nti ssinga si muyimbi yandibadde akutula ddiiru mu kibuga.

Yeewaanye nti kuva buto nga musajja mukujjukujju era bwe yakitegeera nti ebitabo tabirinaamu ssuubi, ng’ate ayagala nnyo ssente, yatandikirawo okuyiiya ku ssomero n’awaka.

Ebikwatagana n’okukutula ddiiru nakyo kitone kyange era ku ssomero nze nali nsomera abaana naddala ab’ekisulo ddiiru zonna ezifuna.

Ng’omwana ayagala essimu, engoye ez’akabi oba muwala oba mulenzi n’ebirala nga banoonya nze.

Nnali nsoma nga nva waka era nga mmanyi engeri y’okubikukusaamu okubiyingiza essomero.

Ne bwe nava mu ssomero nasigala ntambulira nnyo mu bintu bya ddiiru okusobola okwebeezaawo.

Ava mu Busiraamu n’afuuka Omukatoliki

Abamanyi kitaawe bamuyita Musiraamu wabula ye agamba nti Mukatoliki awedde emirimu eyasoma n’emisomo gyonna egimufuula Omukatoliki omujjuvu.

“Kituufu taata wange Musiraamu naye bwe nali mu P5 nga hhenze ewa Jjajja okuwummulako nakizuula nti Bakatoliki nga taata ye yakyuka nadda mu Busiraamu.

Ebbanga lye namalayo nannyumirwa nnyo Obukatoliki kwe kusalawo okukyuka era ayogera nnyo ng’ajuliza Mukama Katonda ne Bikira Maria.

Okusoomoozebwa ne byafunyemu

  • Kuno agasseeko okufuna ettutumu n’emikwano. Gye buvuddeko yakutudde ddiiru n’aba Pepis nga ‘Ambasadda’ mu kazannyo kaabwe aka ‘Tukonekitinge’ akagenda mu maaso kyokka yagaanyi okwogera ssente ze baamuwadde.
  • Ng’oggyeko okwekokkola baayita abafere, John Blaq agamba nti okutwaliza awamu atambudde bulungi kubanga tatobye nnyo ng’ayimbi abalala. Ono y’omu ku bayimbi abasinga okutunda mu kiseera kino kyokka agamba ayolekedde okufiirwa olw’abantu abeeyita bamaneja be abafera abantu wamu n’abategesi b’ebivvulu abamutimba ne mu bifo nga tamanyi abantu ne batabuka nga tagenze kuyimba ekimwonoonera erinnya.
  • Wabula agamba nti ebbanga ly’amaze mu nsiike eno obulamu bwe bukyuse nnyo kubanga kati afuna ssente ezisobola okumuyimirizaawo n’okuyamba ku bazadde be n’ekirooto kye eky’okuvuga ku mmotoka ey’obwa nnannyini era kyatuukirira dda ng’avulumula ‘Kawundo’.
  • Ate mu mpaka za Zina Awards ezaabaddewo gye buvuddeko, yawangudde engule ssatu ey’omuyimbi omupya asinga, omuyimbi wa dance hall asinga n’oluyimba lwa dance hall olusinga ‘Tukwatagane’ Ate mu mpaka za Hi -Pipo Music Awards yawangudde engule y’omuyimbi asuubirwa okuba ow’omutawaana.

Abakugu mu by ’okuyimba kye boogera ku John Blaq

Ragga Dee agamba nti John Blaq alina essuubi okufuuka omuyimbi ow’omutawaana ssinga akuuma omutindo. “Okuyimba y’emu ku nsiike erimu ebyewuunyisa.

Omuyimbi bw’ojja ne sitayiro eyiyo nga tokoppye balala owangaala kubanga obeera oleese ekipya.

Chameleone yajja ne sitayiro ye era kwatambulidde ebbanga lyonna abagezezzako okumukoppa nga Clever J be bagudde.

Abaagezaako okukoppa omugenzi Moze Radio be baagwa kale John Blaq muyimbi wa njawulo ate amaloboozi ag’enjawulo gategeeza kya njawulo mu bantu.

Ekirala waliwo omuntu okuganja ng’abantu bamwagala oyo naye abeera muzibu nnyo.

John Blaq kati ky’alina okukola kwewala malala n’okwongeramu amaanyi n’okuyiiya kubanga bye bitera okusuula abayimbi.

Ye Joseph Bate akola pulogulaamu y’akasengejja ku Bukedde TV, agamba nti John Blaq alemedde ku sitayiro ye era emukoledde wabula alina okwewala okukola ebifaanagana.

Ekizze kisuula abayimbi nga Rocky Giant butakyusa mu ngeri gy’atontomamu, otuuka ku mbeera nga ne bw’oba oleese oluyimba olupya omuntu tekimwetaagisa kuluwuliriza amanyirawo bw’ogenda okuyimba.

John Blaq baasooka ‘kumuzalawa’ nga bagamba ‘adoodooma budoodoomi’ naye afuuse wa ttabu kati ky’alina okukola kwe kwongera okuyiiya yeewale okudding’ana ‘tyuni’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza