NG’EBULA ennaku mbale okulonda nnalulungi wa Uganda omuggya (Miss Uganda 2019/2020) annaddira Quiini Abenakyo mu bigere kubeewo, ebbugumu lyeyongedde mu nkambi nga buli omu yeeswanta okusitukira mu ngule eno.
Ku Lwokuna ekiro kyayitiridde ku Sheraton hotel ng’embooko z’abawala 22 abavuganya buli omu ayolesa ekitone kye mu kiro ekyatuumiddwa (Talent Show) nga gwe gumu ku mitendera abawala bano gye bavuganyaako.

Empaka zino tezaakomye kuteeka bawala abaavuganyizza bokka ku bunkenke wabula n’abalabi wamu n’abawagizi baabwe. Omu kwomu obwedda balinnya ku siteegi okulaga kye balinawo ng’abawagizi baabwe bwe bawaga n’okubakubira enduulu ey’oluleekereeke.
Omuwanguzi waakuyitibwa ‘Miss talent’ era waakulanirirwa ku mukolo ogw’akamalirizo kwe banaalangiririra ne nnalulungi omuggya nga July 26 ku wooteeri ya Sheraton.

Mu bitone ebyayoleseddwa mwabaddemu amazina gw’obuwangwa, okwolesa emisono gy’engoye, okutontoma,
okusoma amawulire n’omuweereza w’oku Ttiivi ne leediyo, okuyimba, okukola obwakalabaalaba n’ebirala.

Brenda Nanyonjo omutegesi w’empaka yagambye nti okulonda omuwanguzi tebagenda kutunuulira ndabika ya muntu yokka wabula n’ekyo ky’asobola okukola nga y’ensonga lwaki batambulira ku mulamwa ogugamba nti ‘‘Beauty with Purpose’’ ekitegeeza ‘‘Obulungi n’ekigendererwa
