TOP

Ennyumba ya Mawaggali ye kyampiyoni wa Namiryango Junior Boys

By Musasi wa Bukedde

Added 29th July 2019

Ab'ennyumba ya Mawaggali ku Namilyango Junior Boy School, banywedde akendo mu bannaabwe ne bawangula sseddume w'ente

Boys3webuse 703x422

Abayizi b'ennyumba ya St. Mawaggali abaasinze nga bayimba

Bya Madinah Sebyala

Ennyumba ya Mawaggali ye kyampiyoni wa Namiryango Junior Boys

Omukulu w'essomero lya Namiryango Junior Boys School,  Sr. Immaculate Nabukalu akubirizza abazadde  okuyamba ku basomesa okusitula ebitone by’abayizi kubanga bibatendeka okukolera awamu n'okwekkiririzaamu.

Yagambye nti, abayizi nga bayita mu katemba n’okuyimba ssaako ebyemizannyo basobola bulungi okwezuula ne kibatendeka okwekkiririzaamu n'okukolera awamu ekibayamba ku mirimu nga baweereza eggwanga.

 bayizi aba t baaga abaakutte ekyokusatu nga bazina amazina gbagisu Abayizi aba St. Mbaaga abaakutte ekyokusatu nga bazina amazina g'Abagisu

 

Yabadde ku mukolo abayizi kwe baayoleserezza ebitone byabwe ogwa MDD ku Lwomukaaga nga bayita mu kuyimba n'emizannyo ku ssomero lino.

Yagambye nti, amasomero g’abalenzi gasuuliridde okusitula ebitone byabwe mu kuyimba ne katemba ne babirekera abayizi abawala kyokka ng’abalenzi be bataata ab'enkya abeetaaga okuyamba kubanga bongera okutendekebwa mu bintu bingi omuli okukolera awamu, okwekkiririzaamu n'okwezuula ekiyinza okubayamba mu biseera eby'omu maaso okuva ku mirimu ne mu maka gaabwe.

 ba t iwanuka nga bazina amazina maganda Aba St. Kiwanuka nga bazina amazina Amaganda

 

Abayizi abaavuganyirizza mu nnyumba zaabwe kwabaddeko: Abawanguzi aba Mawaggali abaafunye obubonero 680 ne bafuna ekikopo ne sseddume w'ente.

Ab'ennyumba ya Mulumba baakutte kyakubiri n'obubonero 659 ne bafuna ekikopo n’embuzi bbiri  so nga aba St. Mbaaga baakutte kyakusatu n'obubonero 652 baafunye 300,000/-. Mu kyokuna baabadde ba St. Kizito n’obubonero 643 ne bafuna  250,000/- ate Kiwanuka abaafunye obubobero 578  baabuuseeyo ne 200,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja