TOP

Gavumenti etulanga bwemage tetulina kigendererwa kya kunyiiza bakulu

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd August 2019

Abategesi Abtex ne Bajjo ababadde bategese ekivvulu kya "Ekyepukulu Ani Asinga 2019" ekyasaziddwaamu Poliisi bagamba tebalina kigendererwa kya kunyiiza bakulu mu Gavumenti

Abtexandbajj0webuse 703x422

Abbey Musinguzi ne Andrew Mukasa nga bibasobedde oluvannyuma lw'ekivvulukyabwe okusazibwamu

Bya Stuart Yiga ne Emmanuel Ssebanenya

Abategesi b’ebivvulu, Abbey Musinguzi owa Abtex Productions ne Ssaalongo Andrew Mukasa owa Bajjo Events bali mu maziga olw’okufiirwa obukadde bwa ssente.

Poliisi eyimirizza ekivvulu kyabwe ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019’’ nga kibulako ennaku bbiri zokka okubaawo. Babadde bakitadde mu kisaawe e Wankulukuku ku Ssande eno nga August 4, 2019.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti yafuna ekiragiro okuva mu bakamaabe nti ekivvulu ekituumiddwa ‘Ekyepukulu’’ kisaziddwaamu. Yagambye nti, kino kyasaliddwaawo oluvannyuma lw’okufuna amawulire ameekusifu nga galaga nti wabadde wayinza okubeerawo embeera eteri ya butebenkevu eri abantu abangi ababadde basuubirwa okukyetabamu wamu n’eri abategesi b’ekivvulu kino.

Bino bigenze okujja nga Ssaalongo Andrew Mukasa owa Bajjo Events awerennemba n’emisango gy’okuvvoola n’okugezaako okunyiiza Pulezidenti w’eggwanga. Yakwatibwa nga June 15, 2019 ne bamutwala mu kkooti n’asindikibwa e Luzira gye yamala akabanga oluvannyuma kkooti n’emuyimbula. 

Lwaki ekivvulu kiyimiriziddwa 

Ensonda mu poliisi ziraga nti, okusinziira ku ngeri Bajjo ne Abtex gye babadde balangamu ekivvulu kino n’okulaga nti be bagenda okubeera ba MC, kyandiba nga babadde n’ebigendererwa ebirala ebitali bya kusanyusa bantu.

Waliwo ebigambibwa nti bano balina akakwate ku mubaka wa Kyadondo East era omukulembeze w’ekisinde kya People Power, Robert Kyagulanyi nga balowooza nti agenda kubeerayo.

Abtex ne Bajjo balina emisinde gya Peoples Marathon gye babadde bategeka nga poliisi erowooza nti bayinza okukozesa ekivvulu kino okutundirako emijoozi gyabwe.

Era abategesi babadde bawoza nti, ssente zonna ezigenda okuva mu Kyepukulu bagenda kuzeeyambisa okuggya abasibe mu makomera ag’enjawulo naddala abaasibwa olw’engassi eri wakati wa 10,000/- ne 500,000/- ekibadde kiraga nti balina bigendererwa birala si kusanyusa bantu.

N’abayimbi be babadde balanga mulimu abalina ennyimba ezikolokota gavumenti.

Tufiiriddwa obukadde 540

Abbey Musinguzi ne Ssaalongo Andrew Mukasa abaasangiddwa ku Freedom City mu Kampala eggulo baategeezezza nti Gavumenti ebalanga bwemage kugezaako kubasibira mu bwavu kubanga baludde nga balanga ekivvulu kino era tebalina kigendererwa kirala oba okugezaako okwagala okunyiiza abakulu mu Gavumenti. Baagambye nti baayita mu makubo matuufu okutegeka ekivvulu kino era ebiwandiiko byonna babirina kyokka beewuunyizza okulaba nga poliisi eyimiriza ekivvulu kyabwe.

Abtex yategeezezza nti, bafiiriddwa obukadde obusukka mu 500 ze batadde mu bintu eby’enjawulo omuli: Okusasula abayimbi abasoba mu 100 be babadde balanga, okulanga ku ttivvi ez’enjawulo, leediyo, okulanga mu mpapula omubadde ne Bukedde, okukubisa bbaana,  okusasula ebyuma, ekisaawe ky’e Wankulukuku,  emisolo, abagenda okukola ku bukuumi n’ebintu ebirala bingi. Baasabye Gavumenti okubalowoozaako kubanga gino gye mirimu mwe baggya fiizi z’abaana n’okubaliisa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...