TOP

Ddaali tugende omuliro ogukoledde

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2019

OMUYIMBI David Lutalo taggwaayo. Oluyimba lwa ‘‘My Day Out’’ alugasseeko olupya lwe yatuumye ‘‘Tugende’’. Yamaze okulukwata n’okukola vidiyo era oluwedde n’akuba Musa Kavuma owa KT Events akaama nti ssebo, ezange zaawule mu zizo ekyasi kya 2020 nkimaze.

Davidlutalotugendergb 703x422

Lutalo n'ekyana mu vidiyo ya Tugende

OMUYIMBI David Lutalo taggwaayo. Oluyimba lwa ‘‘My Day Out’’ alugasseeko olupya lwe yatuumye ‘‘Tugende’’. Yamaze okulukwata n’okukola vidiyo era oluwedde n’akuba Musa Kavuma owa KT Events akaama nti ssebo, ezange zaawule mu zizo ekyasi kya 2020 nkimaze.    


Oluyimba luno lwa mukwano nga lukwata ku muwala gw’ayagala ng’amwegayirira ajje awaka amufumbire amuwonye empewo y’ekiro n’okutagala kubanga waali kati alinga caayi omutali sukaali. Luli mu nnimi ssatu okuli: Oluganda, Olungereza n’Oluswahiri okusobola okugaziya akatale ke mu Uganda n’amawanga ageetooloddewo. Ekidongo kya kimpoowooze kyokka tekikuleka wansi anti kikwatagana n’ebigambo ebijjudde obuwoomi.


Ebimu ku bigambo mu luyimba luno bigenda bwe biti:
leeeeeeeeh... wanzibako omwoyo gwange, truely i dream about you everyday, amulaba mungabire nti nfa ajje eka ntereere... ooh bambi bambi bw’ogaana mpedde haki, maisha yangi ikwo kwa hatari caayi abulamu sukaali ooh my baby, ontadde mu bwongo amajimbi, bambi twerage amapenzi emmere ereme abateesi, since i met you eeeh sikyali muntu ohh, ndi bwentyo bwentyo ooh, beibe sikyava mu nju .........mukwano gira tugende ozikize omuliro ogukoledde, kati laba bw’ontagaza nga sitamidde, gundi gira tugende  n’ebirala bye bimu ku biri mu luyimba luno.
Alugasse ku nnyimba ze endala ezizze zimuwanika mu bire n’okuwoomera abadigize nga Kapapaala lwe yatandika nalwo, Ujuwe, Woloolo, Nakusiima, Nkwagalira ddala, Kwasa n’endala nnyingi.

Ebirala bisange mu Ssanyuka ne Wiikendi ku Lwokutaano.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...