TOP

Miss Tourism 2019, Phiona Kyeru atunuulidde za nsi yonna

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2019

Kye nsookerako kutunda bya bulambuzi nga nkozesa obulungi bwange n’ezimu ku nteekateka z’okuzannya fiirimu nga ngezaako n’okutunda ebifo byonna eby’obulambuzi.

Kyeru2 703x422

Kyeru lwe yawangula empaka za Miss Tourism 2019.

 

 

KU lunaku olw’okutaano Phionah Kyeru yatikiddwa engule y’obwanalulungi bw’obulambuzi 2019/20. Awereddwa omulimu gw’okutumbula eby’obulambuzi ng’ekifaanayi ky’egwanga. DENIS NSUBUGA yayogeddeko naye natulaga ngeri ki gyateeseteese okutumbula egwanga mu by’obulambuzi. Byakyuusiddwa DEOGRATIUS KIWANUKA. 

Webale kuwangula ngule y’obwa nnalulungi w’ebyobulambuzi.

Kale Ssebo.

 Kiwulirika kitya okubeera nga walondeddwa nga nnalulungi w’obulambuzi mu ggwanga?

Nabadde ssi kisuubira. Kyabadde kizibu okukkiriza nti abawala 22 okuva mu bitundu by’eggwanga nti nabadde nsobola okubawangula n’entikkirwa ku bwa Nalulungi. Nawulidde okwagalwa, kyabadde nga tekikkirizika. Naluddewo okukikkiriza okutuusa lwe neesunyeeko ne nkakasa nti bya ddala ssi kirooto.

 Wayingira otya mulwokaano lw’okuvuganya?

Gwabadde mulundi gusooka omwaka guno “2019” okuvuganya mu mpaka z’obwa nalulungi e Busoga. Okumalira mu kifo ekyokubiri kimpadde enkizo nenne okulwana okuvunganya ku mutedeera gw’eggwanga lyonna n’okwongera okufuna ebisaanyizo ebyetaagibwa avuganya ku bwa Nalulungi bwa Yuganda yonna. 

Kyabadde kitya mu nkambi?

Twamaze omwezi mulamba mukuumiro ly’ebisolo “Uganda Wildlife Education Center Entebbe (Zoo)” ewakubidwa enkambi era nga kyali kintabuli nnyo olw’esonga nti eno nasisikaana yo abawala ab’enjawulo okuva mu bitundu by’egwanga eby’enjawulo. Twatedekwedwa ebintu bingi omwabadde eneyisa mubulamu obwabulijjo.

 Lwaki wesimbawo ku bwa  Nnalulungi?

Nnina obwagazi bungi eri ekifo kino era njagala nnyo eggwanga lyange, okubeera Nnalulungi w’ensi yonna kinyamba okwogera okutegeera obulungi eby’obulambuzi. Okulondebwa mu kifo kino kabonero akooleka kye njagala.

 Phionah Kyeru yani?

Phionah Kyeru 22, ndi mukyala nzaalwa y’e lganga era nazaalibwa mu 1997, 27 September omwami David Balazewa n’omukyala Florence Nabwire. Nze mukulu ku baana basatu mu famire. Nasomera ku Makerere College we nava oluvannyuma neneegatta ku Co-operative College e Tororo gye nasomera eby’obusuubuzi n’okubalirira ebitabo. Emisomo gyange nagimaliriza mu June oluvannyuma natikkirwa mu December. Neegatta ku kampuni ya Reign Ads Limited esangibwa e Kamwokya ng’omubalirizi w’ebitabo.

 yeru ngawangudde iss ourism 2019 Kyeru ng'awangudde Miss Tourism 2019.

 

Omulimu ogukwasaganya otya, n’obwa Nalulungi?

Obwagazi buwangula buli kimu, okwolesa emisono kimu ku bintu ebiri ku mutima gwange nga kyangu nnyo okubikwasaganya omulimu ne kyenjagala.

Wali ovuganyizzaako ku kifo kyonna okuleka obwa Nalulungi?

Okwolesa emisono nakitandika nkyali mu Siniya era bwe nneegatta ku yunivasite ne mpagula obwa “Miss Fresher”. Nakiirira ettendekero lyange ku bwa Nnalulungi mu 2017 gye nalangirirwa ng’omuwanguzi. Oluvannyuma ekibiina kya “Tororo Foundation” kyansaba okubakiikirira ng’omubaka wakyo mu 2018 mu mpaka z’obwa Nnalulungi bw’ebituddu eby’enjawulo zeneetabamu newankubadde nga okuvuganya okwakamalirizo tekwategekebwa.

 Kiki ekyakuwaliriza okwesimbawo mu mpaka z’obwa Nnalulungi?

Nateranga okubigoberera ku “Social Media” era nga wano we najja obwagazi bw’okuvuganya mu mpaka zino.  Era nasalawo okuyingira empaka z’okusunsulwamu ne nziwuuta buva. Oluvanyuma neegatta ku baali mu nkambi e Buyende ng’okuwangula eky’obwa Nnalulungi kimu ku kintadde ku mutindo gw’ensi yonna nga kye kyaali ekirooto kyange.

 Wali olemeddwaako okutuukiriza ekirooto kyo?

Mu mazima nedda, era kubadde kwagala kwa Katonda okulaba nga siremwangako.

 Kituufu nti wayingira mu mpaka zino n’okukkiriza okutono nga weesigama ku byafaayo byo?

Ekikulembera buli kimu bubeera bwagazi era bwe bunyambye okugenda mu maaso, olw’ensonga nti mukusunsula ku bwa Nnalulungi bwa Busoga nze naasinga newakubadde nga ku nkomekerero sawangula bwa Nnalulungi bwonna. Singa saalina bwagazi sandituuse ku mpaka zakamalirizo.

 Osuubira waliwo ekintu ekirala kyonna ekikwawula ku bewavuganyizza nabo?

Sirowooza nti waliwo ekitwawula, nayingira mu mpaka zino ng’obuwanguzi obukadde mbutadde ebbali olw’esonga nti nali nina ebimu ku bintu ebipya bye nayagala okuyiga ku mulamwa, ekitegeeza nti nalinga abaavuganya abalala.

 Kiki ekikujjira mu birowoozo byo buli lwe weetaba mu mpaka z’obwa Nalulungi?

Njagala nnyo okujjukirwa, empaka zino zikuwa omukisa okwetumbula, ekikuyamba okutuukiriza ebirooto byo.

 Muntu ki azze akusikiriza okwetaba mu mpaka z’obwa Nalulungi z’ozze wetabamu okuva emabega?

Nga bwe nategeezeza, obwagazi bwokubeerako Nalulugi kyava dda nga kirooto kyange era namala akaseera akawerako nga ngoberera empaka zino ku yintanenti. Okulangirira okuvuganya ku bwa Nalulugi wa yunivasite  bwe kwateekebwawo navaayo nendanga obwagazi nga nyambibwako mikwano gyange era bwentyo bwe natandika olugendo lwange.

 Ngeri ki ekirubiriirwa bwe kiyinza okuyambako eby’obulambuzi?

Obwa Nalulungi w’eby’obulambuzi buyambye abawala bangi abato okumanyika ku mikutu egy’enjawulo. Nga tetunayingira mu nkambi abamu kuffe twali tetwekiririzaamu kwogera mu bantu nga bangi, era okutedekebwa kwetwafuna kwatuyamba nnyo okufuna okwekkiririzaqmu mu kutumbula eby’obulambuzi.

 yeru ngakyali muto Kyeru ng'akyali muto.

 

 Eby’obulambuzi weteesetese otya okubitumbula?

Nina pulojekiti gye natuuma “Tourism in Motion” oba oyinza okukiyita okuzannya firimu. Nteesetese okutalaaga amasomero mu bitundu by’eggwanga eby’egyawulo okufuna abaana abalina ekirubiirirwa ky’okunnegattako. Nja kubatendeka bwe bazannya firimu oluvannyuma nteeketeeke empaka z’omu “theater” ezinabeera n’omulamwa gw’Obwanalulugi nga kino kyekinayambako mukwagaza abaana abato eby’obulambuzi nga webanakulira bakubeera nga bafunye obukodyo obuyinza okubayambako mu kuvuganya eri empaka zonna.

 Ogenda ku kikola otya?

Tugenda kutegeka emizannyo nga tugyesigamizza ku mulamwa gw’obulambuzi, tuli bakutandika nga tuzannya emizannyo oluvanyuma tulyoke tuzannye firimu nga nyabibwako abantu okuva mu kibiina ekitwaala eby’obulabuzi.

 Lwaki essira olitadde mu kukwata firimu n’okuzannya emizannyo?

Ndi muzannyi wa mizannyo era nga njagala okukola ekintu mwenyiza okwetaba era nga kyaku nyaguyira nnyo olw’esonga nti emizannyo ngirinamu obwagazi bungi. 

Ludawa gye wali ozanyiddeko firimu oba emizannyo?

Amazima sizanyirangako ku siteegi nnene, okusingira ddala mbadde mu bibiina ebizannya emizannyo mu masomero si mu siyetta era nga natandika okuzannya emizannyo okuviira ddala mu pulayimale.

 Wali okirowozezaako okukifuulira ddala omulimu?

Lwaki nedda, singa omukisa nga guno gugya ku mmeeza yange njakugwaniriza n’essanyu.

 Kintu ki omuntu kyafuna mu kukola ekirooto kye?

Ng’oggyeeko emmotoka n’ettaka kinyambye nnyo okumanyibwa  nga tewali kisinga kwekyo. Singa abantu batandika okunokolayo mu bintu ebirala nga bwe kibeera eky’amakulu n’okwogera ku mikisa gyo.

 Ki kyewandyagadde okubeera mu byobulambuzi?

Eby’obulambuzi kimu ku bintu ebisinga okuyingiza omusolo mu gwanga, era bwe nkikola mbeera nina etaffaali lye ntadde ku ggwanga lyange.

 Wali otuuseeko mu bifo byobulambuzi byonna?

Kituufu, nali mbaddeko ku lusozi lwa Kagulu olusangibwa e Buyende, ku mugga Kiyira n’ekuumiro ly’ebisolo.

 Mu bino byonna ebifo kiriwa ekyali kikusanyusizza era singa oweebwa omukisa wanditumbudde kifo ki?

Ebifo byonna bisanyusa, buli kintu kyonna ekirambulwa kirina endabika yaakyo era bwe nfuna  omukisa nadyagadde okutumbula buli kifo.

 Okusomoza osinga kukulaba wa mu byobulabuzi?

Okwemalirira ky’ekimu ku kusoomoza mu by’obulambuzi, ebiseera ebisinga abakulira eby’obulambuzi bamanyi okulekayo ebimu kubyo kyokka nga bye biyinza okubaako omusolo gwe biyingiza mu gwanga. 

Kifo ki ekyobulambuzi ky’olowooza nti kirekeddwa ebbali?

Okugeza ekkanisa esinga obutono mu West Nile nga eno egyamu abantu basatu bokka okuli omubuulizi n’abagole bokka era nga abantu batono abagimanyi. Olusozi lwa Kagulu olusangibwa e Buyende nga luno luliko obuwanvu bwa 3600ft ng’era kiteberezebwa okuba nga abafuzi b’amatwaale abaasooka we bateera omukono kudagaano mu Busoga.

 Otegese otya okukozesa engule eno mu kugonjoola ebizibu ebiri mu by’obulambuzi?

Kye nsookerako kutunda bya bulambuzi nga nkozesa obulungi bwange n’ezimu ku nteekateka z’okuzannya fiirimu nga ngezaako n’okutunda ebifo byonna eby’obulambuzi.

 Eby’obulambuzi bya wano byali bikunyumiddeko we wali tonetaba mu mpaka za bwa Nalulugi?

Mazima, njagala nnyo okutambula era nga nkyaddeko mu bitundu ebitali bimu mu ggwanga sirwakuba nti kyekiruubirirwa kyange naye nali njagala nnyo okumanya biki ebiri mu gwanga lyange. 

 yeru Kyeru

 

Wawangula emmotoka, omanyi webagivuga?

Nkyali ku mutendera ogusooka era sisobola kuvuga lwa nsonga nsirina pamiti ensobozesa okuvuga. 

Kati kiki ekiddako?

Ngenda kwetaba muzensi yonna ezinabeera mu Malaysia nga zaakutandika nga 8, November naye ndi wakutambula nga 22, October okuyingira mu nkambi. 

Weteeseteese otya?

Omwezi omulamba gwengeda okumala mu nkambi gwa kunyamba okweteekerateekera empaka zino. Era nsuubira nti neteeseteese ekimala okuvuganya.

 Magezi ki g’owa abawala abaagala okubeerako ba Nalulugi b’eby’obulambuzi?

Kye nnyinza okubagamba kwe kukola ebyo omutima gwabwe kye gubagamba era nga Katonda ye kamala byonna. Baleme kubeeera nakiruubirirwa kimu obutagwaamu mannyi singa tekiyitamu. 

Olina omwagalwa?

Ekyo kansalewo okukitwaala nga kya kyama nga ekiseera ekituufu bwe kinatuuka njakubategeeza.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza