TOP

Ebizuuse ku nju aba Ghetto Kids gye baasasulako

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2019

Eby’ennyumba y’aba Triplets Ghetto Kids byongedde okuwanvuwa. Nga banoonya obukadde 102 okusasula ssente ezibabanjibwa ku nnyumba eno, ate endagaano eyakolebwa nga bagula etabudde abawagizi ababadde basuubira okubayamba nga beebuuza nnannyini nnyumba omutuufu.

Ghettokids1montana 703x422

Montana ne Ghetto Kids

Eby’ennyumba y’aba Triplets Ghetto Kids  byongedde okuwanvuwa. Nga banoonya obukadde 102 okusasula ssente ezibabanjibwa ku nnyumba eno, ate endagaano eyakolebwa nga bagula etabudde abawagizi ababadde basuubira okubayamba nga beebuuza nnannyini nnyumba omutuufu.
 
Abaana ba Triplets Ghetto Kids be baazinira mu vidiyo ya Eddy Kenzo eya ‘Sitya loss’ n’endala nnyingi. Essaawa eno bali mu kattu oluvannyuma lwa Mw. Mansur Ssekatawa eyabaguza amaka gano agasangibwa mu Kilani Zooni e Makindye okubawa nsalensale ya December nga bamuwadde bbalansi we oba si kyo bagiveemu. 
 
Kino kitadde abaana bano ku bunkenke ne balaajanira abazira kisa okubayamba. Ennyumba eno eriko kalina nga yayawulwamu ebitundu bisatu: Ekitundu ekimu kisulamu abaana ba Ghetto Kids,  ekirala maneja ne famire ye ate ekyokusatu, Ssekatawa akyasulamu ng’alindiridde bamumaleyo ssente ze abaviire.
 
Bazze bamusasula mu bitundutundu okuviira ddala nga August 30, 2018 lwe baayingira mu ntegeeragana. Mu mbeera ey’okumatiza abantu nti kye boogerako si kiwaani, maneja waabwe Dauda Kavuma ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book yataddeko endagaano eyakolebwa nga May 15, 2019 omulundi gwe basemba okusasula obukadde 18 ne wasigalayo bbalansi wa bukadde 102. 
 
Wadde abantu abamu bakwatiddwako ne batandikirawo okusaasaanya obubaka n’okukubiriza bannaabwe okuddukirira abaana bano, abalala baatandikiddewo okukuba ebituli mu kiwandiiko kino olw’amannya ga Dauda Kavuma okuba nti ge gali mu kifo ky’omuntu agula mu kifo ky’ekibiina kya ‘‘Tripplets Ghetto Kids’’. 
Ebirala ku mboozi eno bisange ku muko gwa Sanyuka ne wiikendi ku Lwokutaano nga November 15.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi