TOP

Embooko z’abawala ezongedde ebbugumu mu katemba

By Martin Ndijjo

Added 22nd November 2019

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu, abamu babawaana okunyirira ate abalala be balinamu essuubi okuzza katemba ku ntikko.

Film1 703x422

Diana Nabatanzi (ku kkono) ne Peninah Nampanga (ku ddyo)

Bya MARTIN NDIJJO

WADDE abamu ebitone byabwe si bya maanyi ne bye bazannya tebinyuma, endabika yaabwe n’ebintu ebirala bye balina ku mibiri n’ennyambala bibafudde bassereebu aboogerwako mu kisaawe kya katemba.

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu, abamu babawaana okunyirira ate abalala be balinamu essuubi okuzza katemba ku ntikko.

Ssebo oyinza okutunuulira ekyana nga kizannya ku ttivvi n’oyagala okukisikayo oyogereko nakyo naye nga byonna oli ku birooto.

Kati bw’owulira nga balanga, odduka za mbwa ogende oliise ku maaso n’oluusi okwogerako n’omuntu oyo.

Era abamu oluusi bagenda mu Theatre si kunyumirwa bye bazannya wabula kulaba byana. Kino kiyambye okuzza ebbugumu mu katemba. Ye bwe gutuuka kw’abo abalina waaka omuli ‘ebikolo’ n’abanyirira ensusu gujabagira.

Wano abalina ke beekoledde bafuba okutengula emitima gy’ebyana bino nga babiwa ebintu omuli ssente, emmotoka, amayumba, okubatwala ‘awutu’ ku ngendo emitala w’amayanja n’okubakolera ebintu ebirala bingi.

Leero tukuleetedde abamu ku bawala bano abakutte abawagizi omubabiro, ebitonotono ebibakwatako, ebibiina mwe bazannyira n’amaanyi gaabwe.

 eninah ampanga Peninah Nampanga

 

Peninah Nampanga

Ono mupya mu kisaawe kya katemba. Amazeemu omwaka gumu ng’azannyira mu Ebonies. Abasinga bamumanyi nga Topsita Nakatudde mu muzannyo gwa OMG.

Amaanyi ge gali mu kuzannya ng’omwana omuto y’ensonga lwaki bamuyita bbebi olw’ebitundu by’azannya.

Nneebaza Katonda eyampa ka ‘bbebi ffeesi’ ne ka ffiga akalungi. Ku siteegi ndabika nga bbebi naye bw’onsanga ‘awutu’ nga nneekozeeko bulungi lw’okakasa nti ddala ono ‘slay qeen’ si kawala kato.

Agattako nti endabika ye nayo esikiriza abalabi era emukoledde nnyo nga ne mukunoonya omulimu yamuyisaawo mangu.

 abatanzi Nabatanzi

 

Diana Nabatanzi

Ono oyinza okumuyita ffeesi ya Aromatic Entertainment ekibiina mwazannyira olw’endabika ye n’ekitone. Abasinga bamumanyidde mu firimu zazze azannya nga mu katemba w’oku siteegi akyali mupya. Abamu bamumanyi nga Amanda mu muzannyo Nawoloovu.

Ebirala by’akola mulimu: obwa MC, mukozi ku ttivvi, akola obulango bwa laadiyo ne ttivvi ne bizinesi ze endala. Bw’oyogera ku bannakatemba abalina ebitone, Nabatanzi toyinza kumubuusa maaso.

Buli muzannyo gw’abaddemu bamuwa ekitundu n’obuvunaanyizibwa obw’enjawulo okugeza mu Makungula (azannya ng’omuwala ow’effujjo), mu Meron (ayolesa laavu ey’ekimmemmette) ate mu Nawoloovu (azannya ng’omuwala omuyaaye eyabba bba wa muganda we).

Agamba endabika ye emukoledde nnyo era kimuwadde abawagizi bangi abagenda mu mizannyo gyabwe.

Agamba nti ne gyatambulira asisinkana abasajja bangi abamuwa ssente nga bamwebaza okulabika obulungi. Ku kisaawe kya katemba, Nabatanzi agamba kye kiseera okukyusa mu bye bazannya bwe baba nga baakusigaza abawagizi.

Agamba nti kye kiseera bave ku mizannyo gy’obutabo batunuulire ebintu bya ‘dot.com’ ebikwata ku bantu.

 jiri Ajiri Nabukenya

 

Ajiri Nabukenya

Azannyira mu kibiina kya Ebonies. Abasinga bamumanyi nga Ajiswag. Kati y’akola pulogulaamu ‘Oluyimba lwo ku Bukedde TV. Ngoggyeeko okucamula abantu olw’endabika ye n’obuwero bwe yeesala ku siteegi, mu kiseera kino y’omu ku bakwatiridde ekibiina kya Ebonies olw’ebintu by’akola okusanyusa abalabi.

Yajja nga muzinyi naye kati n’okuzannya akakasizza nti ekitone akirina.

Asinga kuzannya bitundu ebiraga embeera z’ekiyaaye ne swagga mwe baggya erinnya lye Ajiswag era kuno agattako n’okuyimba.

Okwawukanako ne bannakatemba abamu, embeera ze ku siteegi n’obulamu bwe obwa bulijjo byawukanira ddala.

Bw’omulaba ku siteegi n’oddamu n’omusanga awantu oyinza okumuyitako oba obutakkiriza nti gw’olabye ng’azannya.

Ku siteegi olaba omuwala omuyaaye era omukyamu owa Ghetto atayagala kumanya mbeera yonna ate ebweru abeera musirise nnyo. Wadde ayogerwako ng’omu ku mbooko za Ebonies, agamba ye atunuulira nnyo ekitone ky’omuntu okusinga endabika.

 udith amuleme Judith Namuleme

 

Judith Kaweesi Namuleme

Y’omu ku baweereza pulogulamu ya Kasalabecca mu kidduula ku Bukedde Tv2 okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano. Azannyira mu Aromatic Entertainment era y’omu ku bawala abakikwatiridde.

Yazannyirako ne mu Diamonds Ensemble ekya Kato Lubwama.

Agamba nti wadde ekitundu oba ekyo ky’okola mu muzannyo kikumanyisa mu bantu, endabikayo ekutunda nnyo era omuwala omulungi ayitawo mangu.

Yennyamidde olw’ebibiina bya katemba ebisasika nga tebizimbye baana olwo abapya ne bafuna obuzibu okwetunda mu bantu okubamanya kubanga be balina okwesaggulira obuwagizi.

 amulondo Namulondo

 

Kevin Namulondo

Azannyira mu kibiina kya Ebonies. Mu muzannyo gwa OMG bamumanyi nga Britah. Katemba gwe mulimu omukulu gw’akola kw’agatta ebirala. Agamba nti wadde ekisaawe kya katemba kigenze kikula n’okukyuka, bingi bikyetaagisa okukola okwongera okulinnyisa omutindo, okusikiriza abalabi ne bamusaayimuto abalina ebitone okuyingira katemba n’okumufunamu.

Agamba nti wadde ekitone akirina katemba amuli mu musaayi, kuva mu buto.

N’endabika ye kyakulwanyisa era abantu bamuyaayanira. Ekinnuma be bantu abatategeera mulimu gwe tukola nti ono aba katemba.

Bwe bakulaba ku siteegi nga weesaze akagoye oba ng’oliko ekitundu kya laavu ky’ozannya ne by’okola nga batandika okukusalako ebigambo n’abamu okukuyita malaaya olwo n’abamu ne bakozesa omukisa guno okukukwana.

 awanyana Nawanyana

 

Betty Nawanyana Destine

Azannyira mu Xpendeboz Entertainment. Bangi bamumanyi nga Irene mu muzannyo ‘‘Ekimuli mu ddungu’’ era ye maneja mu kkampuni ya Kenny tour & travel.

Agamba nti katemba tamunoonyaamu ssente, azannya lwakuba amwagala n’okukulaakulanya ekitone kye n’okubaako ettoffaali ly’agatta ku nsiike eno. Katemba gwe tuzannya akyabulamu naye ekirungi gye tulaga tulabayo.

Akanyiriro k’olaba n’akamwenyumwenyu akatanva ku matama ge gamu ku maanyi gange. Omuwala anyirira buli kimu kimwanguyira ne mu kuzannya emizannyo oba firimu bakuwa ebitundu w’olabikira amangu ekikuyamba okumanyika amangu n’abantu okukwagala.

Phiona Nalumu

Ono wa Zubair family. Abasinga bamumanyi nga Fifi mu muzannyo Namujinga. Agamba nti ekimu ku bisaanyizo bannannyini bibiina bye batunuulira y’endabika y’omuntu kubanga omuwala omulungi atundika mangu mu bantu wadde nga n’ekitone nsonga nkulu.

Agamba nti ekimu ku bireetedde katemba okusigalira emabega kye kikwate ekiri mu bantu nga balowooza nti abaludde ennyo mu nsiike be bamanyi ne batafaayo kutunuulira n’okuwa omukisa bamusaayimuto obwedda bayogerako nga ‘abakabi mu katemba’.

Yagasseeko nti emizannyo gye bazannya ne giragibwa ku Bukedde TV kibayambye okutumbula bye bakola.

 anisula atovu Manisula Matovu

 

Manisulah Mwavita Matovu

Ono naye wa Zubair family ng’abamu bamumanyi nga Nabbosa mu muzannyo Ekiraamo. Agamba nti ekirooto kye kya kufuuka munnakatemba ali ku ddala ly’ensi y’onna ng’azannya n’Abazungu ku siteegi emu.

Ng’oggyeeko endabika y’omuntu, Matovu agamba n’ennyambala kikulu kubanga nayo esikiriza abalabi.

Agamba nti wadde asasulwa oku- zannya, ky’akola akinnyumirwa era olumu akozesa obudde buno okweggyako situleesi.

‘‘Tufubye okwagazisa abantu katemba naye olw’okuba tukyali mabega wa tekinologiya, weesanga nga waliwo kye mwetaaga okukoseza kyokka nga temusobola kukifuna.

Kati abantu bwe balaba ekintu kye kimu ku Ttivvi tebeegomba kudda mu theatre.

  Yvonne Keza Nakalembe

Yvonne Keza Nakalembe

Wa Xpendeboz Entertainment. Amazeemu emyaka ebiri ng’abamu bamumanyi nga Diana mu muzannyo ‘Ekimuli mu ddungu’. Muyizi ku MUBS e Nakawa.

Okufaananako n’ensiike y’okuyimba, agamba ne mu katemba okuvuganya kw’amaanyi lwakuba nti kusinga munda mu bibiina.

Agattako nti endabika ye n’obuvumu bwayolesa ku siteegi bye bimu ku bimufudde ow’amaanyi n’abantu okumumanya.

 anefrances assali Janefrances Nassali

 

Jane Frances Nassali

Ono naye wa Zubair family, mu Namujinga azannya nga Nakawungu. Katemba amumazeemu emyaka ebiri kwagatta okuyimba.

Ekimu ku biruubirirwa bye kwe kusitula ekisaawe kya katemba wadde mu kiseera kino balina okusoomoozebwa obutaba na ssente zimala okukola ku biyinza okusikiriza abantu. Okwawukanako ne banne, Nassali agamba nti wadde endabika y’omuntu kikulu, abantu basinga kutunuulira ebyo by’ozannya ku siteegi.

N’omubi asobola okuba ow’amannyi bw’aba alina ekitone. Balwana kuzza katemba ku ntikko Ebbugumu bwe likendedde mu katemba w’oku siteegi ng’abantu tebakyagendayo kulaba mizannyo, bannakatemba basazeewo okwekolamu omulimu.

Abamu bavuddeyo n’obukodyo okulaba nga basikiriza abantu okuddayo mu Theatre babasanyuse n’okubasomesa.

  • Bbossa Sserunkuma akulira Zubair family agamba nti ekisaawe kya katemba kisigalidde nnyo emabega ekigobye abantu mu mizannyo gye bategeka.

 

  • “Ebintu ebyaleetanga abantu kati babirabira ku ssiimu zaabwe olwa tekinologiya. Kuno bw’ogattako emipiira gy’ensi za Bulaaya naddala Bungereza egikutte abantu omubabiro ne gujabagira.

 

  • Emipiira gino giragibwa kumpi mu budde bwe bumu naffe we tubeerera ku siteegi ng’abasinga basalawo kugenda mu mipiira era gitukosezza nnyo.

 

  • Ssente nazo ntono mu bantu. Omuntu bw’omusasuza 20,000/- olaba ng’akaluubirizibwa kyokka nga naffe twetaaga ssente okukola ebibanyumira n’okusasula abazannyi.

 

  • Ayongerako nti abamu ku bannannyini bibiina tebafuddeyo kuteekamu maanyi na kuyiiya binyuma era bangi bajjula bitayidde ekissizza ensiike ya katemba.

 

  • Kati bali mu kaweefube w’okwagazisa abantu katemba n’okuteekamu ebirungo omuli: ebibiina eby’enjawulo okwegatta ne bizannyira wamu mu mbeera ey’okuvuganya ani asinga, okutabikamu abayimbi n’ebirala.

Ye Joseph Ssennabulya owa Xpendeboz Entertainment emizannyo gyabwe okulagibwa ku Ttivvi nga Bukedde kigenda kwongera okubayamba kubanga kuno abantu kwe basiiba era kwe balina okubalabira n’okumanya bye bakola olwo mu Theatre bajje okweyongeza n’okunnyonnyoka bye bazannya.

  • Ayongerako nti y’essaawa okuva ku mizannyo gy’obutabo badde ku biriwo biyite ebya Dot.com kubanga abantu banyumirwa era baagala kulaba ebibakwatako naddala abakyala.

 

Kyokka waliwo n’abawala abalala abali mu bibiina ebirala nga Diamonds Essemble, Bakayimbira, Afri - Talent n’ebirala abalabika obulungi.

 amilah alungi yomu ku bawala abaludde ennyo mu kisaawe kyokuzannya ebinayuganda Jamilah Kalungi y'omu ku bawala abaludde ennyo mu kisaawe ky'okuzannya ebinayuganda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi