TOP

Ebivvulu ebyaniriza 2020 biibino: Chaka Chaka atuuse, Madoxx ali Makindye

By Musasi wa Bukedde

Added 31st December 2019

NGA tumalako omwaka 2019 n’okuyingira 2020, Bannayuganda abettanira eby’amasanyu n’okucakala baamaze dda okukuba pulaani y’ebifo ebisanyukirwamu n’ebivvulu gye bagenda okumalirako omwaka n’okuyingira mu 2020.

Chaka 703x422

Matovu Junior ng’ayaniriza Chaka Chaka ku kisaawe e Ntebe.

CHAKA CHAKA ATUUSE

Ekimu ku bivvulu ebisenze okwesungibwa kye ky’omuyimbi Yvonne Chaka Chaka okuva e South Africa. Ono yatuuse eggulo wakati mu ssanyu.

Yategeezezza nga bwe yeetegese okukuba Bannayuganda omuziki ng’abayingiza omwaka 2020 n’okubugiriza Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi agenda okuba omugenyi omukulu mu kivvulu ky’e ‘‘Nkuuka Muliro muliro’’ mu Lubiri e Mmengo.

Yeewaanye nti leero Bannayuganda akyalina waaka wadde akoonye emyaka 54 ng’era agenda kukuba ennyimba ze nga: Thank u Mr. DJ, Im Burning Up, Sangoma, Every Woman needs e Man, Im in Love with a DJ, I cry for Freedom, Amazing Man, Keep looking at me, Motherland n’endala nnyingi. Eno wakwegatibwako abayimbi bangi omuli; Jose Chameleone, Eddy Kenzo, Spice Diana, Measch Ssemakula, Geoffrey Lutaaya, Gravity Omutujju, Chris Evanz n’abalala. Okuyingira 10,000/-.

FRESH JJAJJA NE MUZEEYI BAKIDDAAWO BASAZEEKO WAKISO

FRESH Jjajja ng’ali n’abazeeyi b’e Burma abakulirwa Muzeeyi Bakiddaawo wamu n’abayimbi ba Jovi Productions okuli:

Pretty Namutebi, Deborah Kandi, Square Miles ne Spider Roxy nga January 1, 2020 bagenda kubeera Lukwanga mu Wakiso gye bagenda okukubira abaayo omuziki n’okuzannya komedi.

LUTAAYA ALI KU CALENDER

Geoffrey Lutaaya ne Namatovu aba Da Nu Eagles omuli: Jovan Luzinda, Henry Mwanje, Betina Namukasa n’abalala nga January 1, 2020 basazeeko ab’e Makindye.

Omwaka bagutandikira ku Calender Rest House gye bagenda okubinukira nga beekulisa okuyita mu 2019.

Kyokka nga December 31, 2019 batandikira Bukamba mu kisaawe e Kayunga. Agenda kubeera ne Eddy Yawe, Mary Bata, Kabuye Ssembogga n’abalala.

MADDOXX SSEMATIMBA AGENZE KU PAPZ SPOT E MAKINDYE

Madoxx Ssemanda Ssematimba asazeeko ab’e Makindye gy’agenda okumalirako omwaka 2019. Agenda kubeera ku Papaz Spot e Makindye leero nga December 31, 2019 alyoke abakube ennyimba empya n’enkadde okuli:

Nakatudde, Irene, Namagembe, Munnakyalo, Tukolagane, Kankulage, Wowooto, Omuyimbi, Omwani n’Omukyla n’endala nnyingi nga abakulisa okumalako 2019 n’okubayingiza 2020.

GOLDEN BAND BASAZEEKO GGABA

Omuyimbi Ronald Mayinja ng’ali wamu ne Golden Band n’abayimbi abalala nga Jose Chameleone, King Saha n’abalala bagenda kubeera Ggaba Beach ku Lusooka omwaka gye bagenda okukubira omuziki.

Ekivvulu kino bakituumye ‘‘Family Day Out’’. Mu bifo ebirala awategekeddwa ebbinu kuliko:

Freedom City: Abayimbi Kabakko, Daxx Kartel, Gravity Omutujju, Vialni, Ffefe Busi n’abalala be bagenda okubaayo n’okukuba ebiriroliro.

 Theatre Labonita: Waliyo ‘Music Tantal Reloaded’ lwe bagenda okutegeera nti Moth- n’abazeeyi b’e Burma abakulirwa Muzeeyi Bakiddaawo wamu n’abayimbi ba Jovi Productions okuli: Pretty Namutebi, Deborah Kandi, Square Miles ne Spider Roxy nga January 1, 2020 bagenda kubeera Lukwanga mu Wakiso gye bagenda okukubira abaayo omuziki n’okuzannya komedi.

Mukyala we Irene Namng’eno abazannyi ba Ebonies n’abayimbi bagenda kukuba emiziki nga bwe boolesa n’ebitone ebirala.

 Karibu Bar e Mbalala: Omuyimbi Ssaalongo Siraje ajja kubaayo ng’akubira abadigize omuziki ku Lusooka omwaka.

 Christex Hotel e Nakifuma: Wajja kubaayo endongo Ssemadongo olwo abaana babinuke okukeesa obudde.

 Colline Hotel Mukono: Rema Namukala ajja kubaayo nga December 31, ate enkeera nga January 1, 2020 agenda kubeera ku Holly Farm e Nansana.

 Standard hotel Nateete: Afrigo band gyeri n’okukuba ebiriroliro.

 Happy Boys e Namasuba: Waliyo abayimbi ba kaliyoki n’ebiriroliro.

 Satellite Beach e Mukono: Tosubwa abazannyi ba komedi n’abayimbi ab’enjawulo.

 Kangulimira: Wajja kubaayo David Lutalo.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...