TOP

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara ekitone akizudde mu ffirimu

By Lawrence Kizito

Added 21st February 2020

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.

Firimu 703x422

Lugobe

 

AZANNYIRA mu kibiina kya Aromantic Entertainment ekikulirwa Ahmed Lubowa.

Obukugu bwayolesa ng’azannya ebitundu ebimuweereddwa, toyinza kukikkiriza nti yali aluubirira kuwa bantu masakalamentu.

Ali mu ffi rimu ya ‘Sherry’ ekyase ennyo ensangi zino.

Eyigiriza abantu ebizibu ebiva mu bwenzi n’okukubiriza abafumbo okwesigaηηana baleme kufuna bizibu omuli endwadde n’entalo.

Mu Ffi rimu eno azannya nga Zed, omusajja omwenzi eyakyanga abakazi n’akamala nga mwotwalidde n’abakozi b’awaka.

Ku nkomerero yakizuula nti obufumbo ob- wannamaddala bubeera bwa mukazi omu omutima gwe gwagala era yafundikira yeetondedde mukazi we Mariam ne batandika okubeera mu ddembe.

Yazannya ne mu ffi rimu ya “Hope” eraga obubbi, obulyake, obwenzi, n’obulimba obufumbekedde mu bantu ensangi zino.

Muno alabikiramu ng’omulamuzi omufere eyakwatagana n’omukazi ne bafera bba ataasoma gwe baalimbalimba n’ateeka omukono ku biwandiiko ebiwaayo ettaka lye ng’alowooza nti asayininga ku satifi keeti z’abagole ezikakasa obufumbo.

Kati yaweereddwa n’obuvunaanyizibwa okubeera kitunzi mu kibiina kya Aromantic Entertainment.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...

Mwe 220x290

Abaakava e Dubai babaggye Matugga...

WABADDEWO akasattiro e Matugga abasawo b’ebyobulamu okuva mu Munisipaali y’e Nansana bwe bazinzeeko abantu ababadde...

Abaana 220x290

Engeri Corona gye yakutte aba Watoto...

OMU ku baakulemberamu abaana ba Watoto okugenda e Bungereza ye yasooka okulaga obubonero bwa Corona. Gwe baasoose...

Olupapula 220x290

Luli Bukedde tubadde tumusomera...

ENSWA bw’ekyusa amaaso naawe okyusa envubo. Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bwe buwanise amatanga ono omusomi...