TOP

Laba byana biwala ebyanywa amata bwe byegiriisiza mu bbinu ly'emmotoka z'empaka

By Martin Ndijjo

Added 21st February 2020

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’ ebitukula obirengera nga teweetaaga kubuuza

Omukyalangaatudde 703x422

ONOONYA ssanyu lya ku nsi, olina situleesi oba onoonya wa kuliira bulamu. Alina mmotoka ekisumuluzo, owa pikipiki gisambe naawe ow’ebigere nnoonya banno tugende mu mmotoka z’empaka.

Ng’oggyeeko okuba omuzannyo abawagizi gye bagenda okulaba n’okuwagira mmotoka z’empaka n’abavuzi baabwe, abavubuka baalifuula bbinu lyennyini gye bafuuyira ebbidde ng’eno ebidongo bwe bisindogoma wamu n’ebyana ebyakula ne biwola nga byesaze obuwero okwetala gy’obeera nti bali mu lumbe.

Waliwo n’abagendayo kyokka bw’obabuuza ku by’emmotoka nga tabimanyi bali mu kutiguka. Ate bwe buwungeera ne nkulabira. Ebyana biwala ebyanywa amata byegiriisiza mu mmotoka z’empaka era mu zisembyeyo ezaabadde mu bitundu by’e Mbarara byaleese abasajja beenuguuna.

Abawagizi aba buli kika omuli: abaana, abavubuka, abakadde, bataata ne bamaama, abagagga abavuga mmotoka ez’ebbeeyi n’abaavu aba ssapatu eno gy’obasanga.

Kyokka n’abawuulu babeerayo mu bungi nga banoonya zi ‘sure’ soma ‘ssuwa’ oba ‘win’ soma wiini ekitegeeza nti emikisa gyabwe giri 90 ku 100 okufuna ababawa essanyu.

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’ ebitukula obirengera nga teweetaaga kubuuza.

Omanya bumanya nti ye ssaawa okuliisa ku maaso nga bw’onyumirwa abavulumula mmotoka n’obukolomooni bwe bakola omuli okuweta amakoona ku sipiidi, sawuti, n’akafubutuko olwo abasajja abalina ebigambo byabwe nga n’ensawo zaabwe nsanyufu ne beeyogerako.

Ebbinu bwe lyeyongedde mu muzannyo guno, abategesi nabo ne bakyusaamu. Kati bagikolera ddala nga bizinensi mwe bayoola omusimbi. Waliwo n’empaka ezimu ze baguza bapulomoota abaziranga n’okuzitegeka ng’ebivvulu olw’ebirungo bye bateekamu.

 

 

 

 

 

 

 

 

 Ebifananyi bya Ali Waswa ne Nicholas Kalyango 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...