TOP

CORONAVIRUS: Abayimbi nabo abatakuza mitwe

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2020

Aba mmereyaleero bakaaba, abeetegekera balya ku nkalira Mbeera eriwo wabula Bannayuganda bonna. Wadde nga tebakyakola, abayimbi abamu beegumizza nga bagamba nti eno embeera ya kiseera buseera basuubira obudde bwonna okutebenkera baddemu okukola kyokka abalala bagamba kye kiseera okuyiga okwetandikirawo emirimu emirala

Abayimbi1 703x422

 

ENGERI CORONAVIRUS GY’ANYIZE ABAYIMBI N’AMAGEZI GE BASAZE

Ng’oggyeeko abayimbi mu Bulaaya abafudde olwa ssennyiga wa Coronavirus, wano mu Uganda tewannabaawo muyimbi afa bulwadde buno.

Abayimbi Omucongo Aurlus Mabele ow’e Congo ne Emmanuel N’Djoke Dibango ow’e Cameroon be bagambibwa okufa obulwadde buno.

Wano Iyrn Namubiru n’abayimbi abalala we baviiriddeyo ne bakubiriza bayimbi bannaabwe okwekuuma nga bagoberera ebiragiro ebyasiddwaawo okulwanyisa ssennyiga ono atandise n’okutta bassereebu.

Ng’oggyeeko ekyo, abayimbi be bamu ku bantu abamanyiddwa okubeera mu mbeera y’okwejalabya era wano abasinga we basinzidde okulajaana nga bagamba nti ssinga embeera tekyukako, boolekedde okudda mu kyalo nga tebakyasobola kwebeezaawo.

Olw’emiwendo gy’ebintu egirinnyisibwa buli kiseera ng’ate kino kyagudde bugwi ,abayimbi kati bali mu kusala magezi ku kiki kye balina okukola okwebeezaawo.

Abamu batandikidde ku kusala ssente ze babadde basaasaanya ng’abadde afulumya emitwalo 30 alunaku kati afulumya mitwalo 15. Abalala beggyeeko omuyoolerero gwa bawolole be batambula nabo.

Abayimbi nga Chameleone, Bebe Cool, John Blaq n’abalala batambula n’abavubuka bangi omuli abakwata ensawo, essimu, bakanyama n’abalala abatalina kye bakola kyokka nga basuubira kulya ku muyimbi.

Kyokka waliwo n’abayimbi abalya ssente ekivubi olw’okuba baba basuubira okuyimba buli wiikendi.

alt=''

 

Abamu babadde tebalinda na wiikendi anti babeera n’emikolo oba bbaala ze bakolera wakati mu wiiki.

Bano babadde n’enkola y’okwewola ssente okuva mu bategesi b’ebivvulu ne ba ‘Money Lender’ nga babasuubizza okuzibaddizzaawo nga bamaze okuyimba kyokka mu mbeera eno tebamanyi ddi lwe baddamu kukola era eby’okwewola babivuddeko.

Abayimbi abamu banyumirwa nnyo okubeera n’ebintu eby’ebbeeyi ng’okuvuga mmotoka ez’omulembe ze bakyusa ng’ebikooyi naye mu kiseera kino abamu bazze ku boodabooda ate abalala mmotoka zaabwe ezitanywa nnyo mafuta ze baggyeeyo.

Abayimbi boogedde Stabua Natooro Y’omu ku bayimbi abasinga okufuna ssente z’okuyimba ku mikolo.

Agamba nti baagenze okubayimiriza ng’alina emikolo egiwerako gye babadde bamupangisizza okuyimbako. Okwawukanako n’abayimbi abalala, ono oyinza okumuyita ow’omukisa.

Oba embeera yagitegeerako n’atandika bizinensi y’eddwaaliro? Wadde agamba nti naye embeera emunyiga olwa bizinensi ze ezisinga okuyimirira, tali mu bayimbi abakaaba eky’okulya oba abatudde awaka.

Ono obudde bwe obusinga kati abumala ku ddwaaliro lye erya Stana Medical Centre e Kitebi ng’alondoola enzirukanya y’emirimu era agamba ayagala kukozesa ekiseera kino okuwa bizinensi ye obudde okulaba ng’ekolera ddala bulungi.

Yasabye bayimbi banne okutwala embeera eno nga ekyokuyiga okutereka ku ssente ze bakola.

Ku ddwaaliro Stabua agattako emirimu emirala omuli: okulima, amaduuka ssaako amayumba g’abapangisa mw’aggya ssente.

Haruna Mubiru “Nga tuvudde mu by’olwali, obulamu bwe busooka era eno embeera gye tulimu teriiko mugagga na mwavu oba kibiina kya byabufuzi ky’owagira oba eddiini gy’osoma.

Buli muntu kati alina kukola kimu kusaba Katonda bwe wabaawo eyamusobya amusonyiwe naye gye tulaga tewali amanyi.

Waliwo embeera ejja nga yakuyigirako naye naffe ng’abayimbi embeera eno etuyigiriza okutereka ku ssente ze CORONAVIRUS:

Abayimbi nabo abatakuza mitwe Aba mmereyaleero bakaaba, abeetegekera balya ku nkalira ‘Abayimbi bange nja kufa nabo’ tukola n’okukolayo ebintu ebirala.

Kati y’essaawa ababadde batereka okufuna eky’okulya ng’abalala bakaaba.

Ono kati obudde bwe obusinga abumala ku kirabo kye eky’emmere e Makindye kyokka nayo abantu bajja batono nnyo.

Hellena Nanjego Ono abasinga bamuyita muyimbi wa ku mikolo.

Alina ne bizinensi endala ey’ebipangisibwa ku mikolo nayo gy’agamba nti tekola olw’embeera eriwo.

Kati yasazeewo kwemalira ku kulima n’okulunda bye yatandikako ku ffaamu ye essangibwa e Nseke mu Mpigi. ‘‘Waliwo embeera lw’etuuka nga ne bw’oba olina ssente tezikuyamba nga bw’olaba bannaffe abali mu nsi z’ebweru.

Batuuka mu maduuka okugula ebintu nga tebiriiyo ate abamu babapimirako bupimizi’’. Nanjego bwe yagambye.

Yakubirizza abayimbi okutandika n’okulima obutakosebwa mu bya mmere.

Maureen Nantume Ono agamba nti mu kiseera kino buli kimu ekikye kiyimiridde era talina kyakukola okuggyako okusiiba awaka n’abaana be era kati afuna obudde obumala okubasomesa n’okubabuulirira wamu n’okuzannya nabo. “Ng’oggyeeko okuyimba, alina bizinensi endala eya Momo Villas e Kitende ey’ebisulo ebisulwamu nga nayo kati tekola.

 

Olw’embeera ya ssennyiga ono omukambwe twasalawo okuyimiriza abantu okusulamu nga kati oluusi ng’endako mu nnimiro e Bukesa - Kitende gye nnimira.

Sophie Gombya Bayimbi bannange na balaalikirawo nga naakatuula mu ntebe y’ekibiina kya Uganda Musicians’ Association (UMA) ekibagatta nti teri muyimbi asobola kuwangula bulamu ng’akola gwa kuyimba gwokka.

Abaakitwala ng’ekikulu kati bakirabyeko kati era ndowooza gubadde mukisa gye bali.

Abayimbi era mbasaba tutwale omukisa guno okukozesa ekitone kyaffe tusomese abantu ebikwata ku kirwadde kino okukyewala naddala nga tebabeera mu bifo bya mujjuzo, okunaaba mu ngalo n’ebirala.

Fresh Kid Wakati mu ssente ezibuze olwa coronavirus, Fresh Kid ali mu kusattira anti y’aliisa bazadde be n’abamu ku booluganda. Yategeezezza nti bwe yamanya ekirwadde n’asalawo abeereko awaka bwe baabawummuza ku ssomero wabula yali yayiiya dda eky’okukola ekirala bw’aba tayimba.

Okuva minisita Nakiwala Kiyingi lwe yali asoose okumugaana okuyimba, yamanyirawo nti emitawaana giyinza okumujjira kwe kusalawo okwetegekera. Wadde yagaanye okwogera ekirala ky’akola, abamuli okumpi bagamba nti alina ennimiro e Luweero gy’atera okugenda okulima kasooli, muwogo n’ebijanjaalo.

Adam Mulwana Ono ye yayimba Toka kwabalabala olwanoonyeza Dr. Besigye akalulu mu 2016. Agamba nti yabirengererawo ng’omuntu.

Wadde okuyimba gwafuuka mulimu naye ekyo kitone butone ekitegeeza nti omuntu alina okukolayo omulimu omulala.

Kati ye afumba mmere mu wooteeri ye era alinze embeera lw’eritereera.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono