TOP

Bano abayimbi 2013 gubalese tebaliiko abiita?

By Musasi Wa

Added 29th December 2013

Okufuna omubeezi gw’olaga abantu si kyangu. N’abayimbi abaasuubiza okutulaga abaagalwa baabwe ng’omwaka gwa 2013 tegunnaggwaako, basobeddwa eka ne mu kibira anti omwaka guweddeko nga tebannatuukiriza bisuubizo byabwe. HASIFAH NAAVA abatuukiridde n’awayaamu nabo ku nsonga eno era bagambye bwe bati:

2013 12largeimg229 dec 2013 102503930 703x422



Okufuna omubeezi gw’olaga abantu si kyangu. N’abayimbi abaasuubiza okutulaga abaagalwa baabwe ng’omwaka gwa 2013 tegunnaggwaako, basobeddwa eka ne mu kibira anti omwaka guweddeko nga tebannatuukiriza bisuubizo byabwe. HASIFAH NAAVA abatuukiridde n’awayaamu nabo ku nsonga eno era bagambye bwe bati: 

‘Mmulina naye...’ Phoebe Nassolo: Omwami gwe nabasuubiza nkyali naye, lwakuba  sisobodde  kumubalaga mwaka guno naye guno ogwa 2014 nga gunaatera okutuuka wakati nnina okumubalaga. Buli kimu tukimalirizza omwaka guno, esigadde kimu kumulaga bawagizi bange.

‘Owange ng’enda kubamusuulako’ Betty Mpologoma: Abantu babadde basusse okumbuuza omwami naye omwaka guno bamulinde kubanga ng’enda kumubalaga mu buli ngeri. Nali nsuubira nti 2013 tegujja kuggwaako nga sibalaze musajja wange naye eby’abasajja si byangu. Omwaka guno gwe tugendamu omupya nja kumubasuulako busuuzi era mulindirire essaawa yonna.

‘Mbeegayiridde mundeke’ Catherine Kusasira: Bannange, ku luno mundeke mubuuzeeko ne ku bayimbi abaakatandika. Mbeegayiridde mundeke.

‘Nabirekera Katonda’ Ssenga Justine Nantume: Eby’abasajja kirabika mbyenenye omwaka guno. Bannange, abasajja kye balabika si kye bali. Nze kati nabirekera Katonda era simanyi bbanga ki we ndiddiramu kufuna, ndi ku birala nnyo.

‘Eby’abasajja bibuzaabuza’ Hope Shifah: Bannange, mukimanye nti abasajja si bangu. Nange nali nsuubira nti 2013 we gunaggweerako nja kuba mbalaze omusajja wange naye si byangi. Ekirungi nkyali muwala muto, nnina essuubi nti nja kufuna omutuufu era mmubalage. 

‘Byantabukako’ Queen Fatia Amanda: Nali mmanyi 2013 w’aggweerako nja kuba n’omusajja omutuufu naye kati nsaba ssaala zammwe. 2013 nali nguwaddeyo kwetegereza musajja gwe mbadde njagala okubalaga naye byantabukako. Ono gwe nafunye njagala mmubanjulire omwaka guno nga tegunnaggwaako kubanga akabanga ke mmaze naye sinnamufunamu buzibu.

'Nabivuddeko' Ziza Bafana: Nali nsuubira nti ng’enda kubalga kabiite wange ng’omwaka 2013 tegunnaggwaako naye abawala b’emyaka gyaffe nkizudde nga si bangu. Kati nabavuddeko, kansooke nkole ssente eby’oku-wasa ndibiraba nga nteredde.  Katonda gw’ana-ndaga ng’eki-seera ekituufu kituuse nja kumubalaga. Nali nsuubira nti ng’enda kubalga kabiite wange ng’omwaka 2013 tegunnaggwaako naye abawala b’emyaka gyaffe nkizudde nga si bangu. Kati nabavuddeko, kansooke nkole ssente eby’oku-wasa ndibiraba nga nteredde.  Katonda gw’ana-ndaga ng’eki-seera ekituufu kituuse nja kumubalaga.

 
 

 

 

Bano abayimbi 2013 gubalese tebaliiko abiita?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...