SPICY oli biki mwana?
Nze ndi sitede era sirina ttabu.
Akwagala akusanga wa?
Mbeera Makerere.
Ee.... e Nakulabye mu Kiyaaye wavaayo ddi?
Nze sibeerangako mu Kiyaaye.
Kale tukite..., akwagala agamba ki?
Mulungi nnyo n’okusinga bw’olowooza.
Eehh....nga kika, mpozzi amannya go ggwe ani?
Diana Namukwaya.
Ate ag’eyakusiima?
Nedda maama ago ga kyama kuba tetunnayanjula wadde okukyalako mu bakadde.
oba olina emyaka emeka?
19 gyokka.
Olwo osazeeko emeka kuba ako kalombolombo ka bakazi?
Nedda sisazeeko wadde ekitundu.
Kituufu nti wali oyimba kaliyoki?
Wabula tonsesa. Oba ate ebyo wabiggya wa? Siyimbangako ku kaliyoki kuba n’oluyimba lwange olwasooka ‘Onsaanuula’ nduyimbye ndi mu ssomero.
Bayimbi banno bagamba nti toyambala kawale ka munda, kituufu?
Eyo nnugu yaabwe, sitambula nga ssambadde kawale.
Kiki ekisinga okukusanyusa?
Okuyimba.
Ate ekikunyiiza?
Nnakoowa ssamwassamwa
Nnakoowa abazunza eng’ambo