TOP

Ffiga yange ekuba abalabi

By Musasi Wa

Added 7th February 2015

Amannya go nnyabo.

2015 2largeimg207 feb 2015 130340863 703x422

Mukwano gyebaleko.

Tuli awo tuyiiyayiiya.

Naye onyirira.
Weebale kusiima.

Amannya go nnyabo.

Nze Dorcus Mariam Mubeezi.

Mubeezi lya mwami oba Daddi.

Ekyo kindekere.

Kale mpozzi obeera wa?

Kawanda.

Okola mulimu ki?

Nsoma ku yunivaasite e Makerere.

Eyakusiima ali atya?

Mulungi nnyo.

Bamuyita ani oyo bw’aba takuswaza kwogera.

Sweet Richard wange kwe nfiira.

Simanyi muli bafumbo?
Ye era mbeera naye.

Bambi mwebale kwagalana.

Ku mubiri gwo kiki ky’osinga okweyagala ko.

Nneeyagala nzenna kuba Mukama yampunda bulungi nga buli ekindiko kyonna kyeyagaza.

Naye londako ekisinga.

Ffiga yange ate yo ntemu nnyo.

Ntemu etya mukwano.

Anti ekuba abalabi.


Muntu ki oyo gw’osinga okwenyumirizaamu n’okwagala ennyo.

Nnaalongo ne Ssaalongo abe Salaama, Ruth ne Ritah, n’omwami wange kuba mwagalira ddala era nsiima byonna by’ankoledde, baganda bange ne kkojja e Masanafu.

Ebiseera byo ebyeddembe okola ki.

Mbeera mu kuyimba mu kkwaaya y’Ekkanisa.

Nnyimba ki z’oyimba?

Za Katonda ne bannange kuba ndi Mwadventi.

Weebale kwagala Katonda.

Anti yatufudde kye tuli era buli kimu y’akigaba.Ko akasusu oba okaliisa ki okukakuuma nga kaaka?
Mpoomerwa nnyo Chipusi n’enkoko.

Magezi ki g’owa bawala banno?

Bayige okwekuuma era baagale nnyo Mukama kuba y’agaba byonna.

 

Ffiga yange ekuba abalabi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda