TOP

Bebe Cool ne Rema bankolera

By Musasi Wa

Added 6th August 2015

Okimanyi nti onkubye era onkolera? Ne bwe nkukuba ntya, tolina ky’ofunamu kuba sinoonya.

2015 8largeimg206 aug 2015 152019650 703x422

 Okimanyi nti onkubye era onkolera?

Ne bwe nkukuba ntya, tolina ky’ofunamu kuba sinoonya.

Ky’ogamba wafumbirwa dda ku myaka egyo?

Nnedda, naye nnina gwe ndaba, mwetegerezza okumala ebbanga era ndaba twesaana.

Amannya go ddiya?

Nze Flash Love.

Ba Flash Love beddira ki?

Hahaha, ago ga siteegi, amatuufu nze Sharon Flavia Nantambi. Ndi wa Njovu.

Obwedda njogera na muyimbi?

Kituufu, ate era ndi munnakatemba. Nzannyira mu Ebonies.

Mu nsi osinga kwagala ani?
Nsinga kwagala maama ne taata kwe ngatta mikwano gyange.

Ee...lindako mbadde nneerabidde, njagala nnyo Bebe Cool ne Rema kale bankolera.

Kiki ekiraga?

Abo ababiri nnafuuka ‘folowa’ waabwe kubanga ennyimba zaabwe zonna nzaagala.

Wangambye nti oli muyimbi, ezizo ze ziriwa?

Sinnafulumya kuba zikyali mu situdiyo.

Osinga kuwoomerwa mmere ki?

Omuceere ne kawo.

Lwaki tompa ku kanamba nnaakukubirako edda?

Simala gagaba nnamba yange.

Kati akwagala akufuna atya?

Ku Face book, ssaamu Flash Love. Oba oyinza okunsanga ku La Bonita essaawa yonna.

 

Bebe Cool ne Rema bankolera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.