TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Okuzina ye dduyiro gwe nkola buli lunaku

Okuzina ye dduyiro gwe nkola buli lunaku

By Musasi wa Bukedde

Added 6th January 2016

Kiki ky’osinga okunyumirwa okukola ng’oli mu kisenge kyo? Nnyongeza omuziki ne nzina amazina nzenna ne ntuuyana, era okuzina nkukola nga dduyiro Mpa ku nnamba y’omulenzi wo njogereko naye. Omugambe ki? Nviira ku bbebi onoomukwasa ne kasikonda.

Sanyu1 703x422

Mwana muwala enviiri zo nga zirabika bulungi

Okakasa? Naye saagala ‘kunjubisa’

Njogera mazima, mpozzi ggwe ani?

Nze Faridah Kyomuhendo ow’e Makindye.

Okola mirimu ki okwebeezaawo?

Nkyasoma, naye nnyongerezaako okuluka ebintu n’okutunga engoye, ensawo, ebyokwewunda n’ebirala.

Wasemba ddi okukuba embogo mu Lungereza?

Kye nzijukira omusomesa yampitayo mu kibiina n’ahhamba nti, ‘Pull up your socks’ ekivvuunulwa nti nnyongeremu amaanyi mu kusoma. Wabula nze saakitegeera era nalowooza ahhamba kusika sokisi zange zituuke ku maviivi. Naswala

Akalulu ko ogenda kukawa ani?

Nze nneesunga kulonda omuntu omu yekka, Ssemujju Haawa ku bwakansala e Makindye.

 

Kiki ky’osinga okunyumirwa okukola ng’oli mu kisenge kyo?

Nnyongeza omuziki ne nzina amazina nzenna ne ntuuyana, era okuzina nkukola nga dduyiro
Mpa ku nnamba y’omulenzi wo njogereko naye. Omugambe ki? Nviira ku bbebi onoomukwasa ne kasikonda.

Wali obaddeko n’omulenzi n’akulimba ate naawe n’okkiriza?

Omulenzi yali ayogera nnyo ne mukwano gwange omuwala, kyokka n’ankakasa nti tewali kigenda mu maaso okutuusa lwe nabasanga mu buliri.

Ssinga obeera n’abasajja babiri naye nga bombi ba mugaso gy’oli, okola otya okulondako omu?

Ate bw’aba wa mugaso ngoba waaki? Bombi mbasigaza

Londa omuyimbi asinze ku banne mu mwaka omukadde

Ebya ddala Bobi Wine yakoze bulungi nnyo omwaka oguwedde.

Ndekera ku ssimu yo nga tonnagenda

Sooka ompeereze obubaka ku Facebook, nze ‘Frida Ashley’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...