WALAAYI ono omwana alina ebiiso ebinkolera.
Simanyi ggwe ogamba nze. Lwaki obadde onsongamu.
Ekitegeeza abasajja abakukwana batera kukuwaana maaso. Otegedde otya?
Kituufu bangi abatera okwogera ku maaso gange ate bonna babeera baagala kusima zzaabu wange.
Ky’ogamba olina ekirombe kya zzaabu, bw’ompa ku ssente.
Ssente zo nnina eziwerako, kubanga nnyimba ku mikolo ne ku bivvulu ate bansasula.
Nandiba nkumanyi, okozesa linnya ki?
Tash K Tatu gw’owulira ow’e Mbarara
Bulijjo ye ggwe, kapya ki?
Love yo ke nninawo akapya.
Olinayo ekintu ekyakulema okufuna omwaka oguwedde ng’okyesunga mu guno?
Bingi, wabula kyannuma nnyo obutawangula ngule ya muyimbi asinga mu bugwanjuba bwa Uganda, naye omwaka guno banneerinde.
Mbadde mmanyi weesunga kukuba mbaga omwaka guno?
Ani? Nze omwana w’abalungi? Osaaga. Nnina ebyokukola bingi ebisinga embaga.
Wali obaddeko n’omusajja n’akugwamu nti omucanga n’omulala?
Haa... Omanyi essimu ezimu zirikoodinga amaloboozi g’oyogera n’abantu. Kati lumu omusajja ng’akebera amaloboozi ago era awo we yakitegeerera nti nnina be njogera nabo ate nga mbaagala nnyo okusinga ye, era twayawukanirawo.
Mpaayo ekintu kimu ky’otosobola kukolera musajja?
Sisobola kumuteekamu ssente. Ku ddiiru ki? Oyo taba musajja
Biki by’omanyi ebikuuma abaagalana okumala emyaka?
Ekisinga obukulu ssente kubanga teri mukyala ayagala musajja mwavu. Ekirala obwesigwa, n’obugumiinkiriza, ate olina okubeera n’obudde bw’okumala ensonga z’omu kisenge.
Londayo omuyimbi gwe wandyagadde okunyumya naye ekiro kyonna
David Lutalo ajje tunyumye.
Mpaayo omuntu omu abaddewo ku lulwo era ng’akuyambye nnyo.
Sparkle Promo mmwebaza ne famire yange yonna. Kati nkusanga wa? Nsanga ku facebook, noonya Tash K.