TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Omusajja owolugezigezi tamanyi bya mukwano

Omusajja owolugezigezi tamanyi bya mukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2016

Omusajja owolugezigezi tamanyi bya mukwano

Na1 703x422

Mukwano ondabikidde bulungi, oba nkutwaleko?

Weebale kusiima naye nze siringa abo abawala be mutera okulonda ekkubo.

Eh! ng’oli mukambwe, simanyi oli afande?
Ndi muntu wa bulijjo, nze Anitah Asiimwe ow’e Zzana.


Omusajja ow’olugezigezi n’omwavu, otwala ani?

Ekirungi sinoonya, naye nfunda n’omwavu.

Omusajja ow’olugezigezi takussaamu kitiibwa ate abasinga tebamanyi laavu.
Naye omwavu aba amanyi w’akoma, aba wa mazima ate batera okubeera n’ekiraavulaavu.

Kiki kye weemanyiiko mu bya laavu?

Njagala nnyo abasajja abalungi mu ndabika, ekirala ndi munafu nnyo era siyinza kwetatantala kulwana.

 Ssinga okimanya nti olinayo muggya wo kiki ekisooka okujjira mu mutwe?

Ntandika okulaba nga buli kimu kye mbadde nfuna okuva ew’omusajja kyesazeeko. Kwekugamba nga obudde, laavu, ne ssente byonna nnina gwe mbigabana naye.

Naye mu ekyo muggya wange simunenya kubanga taba na musango.
Wali weegomba kufuuka ki okuva mu buto?


Nayagala nnyo okubeera omulamuzi oba munnamateeka naye kitange yayagala nnyo okunsalirawo mu buli kimu era teyaηηanya kukola kye njagala. Nasoma bya misono
n’okuyooyoota ensusu naye era ndi musanyufu.

Bw’osisinkana omuyimbi Haruna Mubiru oyinza kumugamba ki?

Ebya ddala Hajji ankolera, muntumulamu ate buli lw’ayimba owulira nga kiva ku mutima gwe. Nandyagadde annyimbiremu ku lunaku lw’amazaalibwa gange.

Olinayo eηηombo kw’otambuliza obulamu bwo

Obugumiikiriza kye kisiikirize mwe mpummulira. Eyo eηηombo empa essuubi erya buli lunaku ne nsigala nga ηηenda mu maaso.

Lunaku ki lw’otolyerabira ng’osoma?

Omusomesa yagezaako okwagala okunkaka akaboozi. Yampita kyokka bwe natuuka n’aggalawo oluggi n’aηηamba nti mmukuba nnyo. Bwe nalaba atandise okwagala okunnyambula ne nkuba enduulu. Mu kutya okungi
nasaba bazadde bange bankyuse essomero naye saabagamba nsonga.

Mpa ku facebook yo.

Noonya Rhionah Anitah.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?

Kita 220x290

Ebya Kitatta bijulidde

Kino kitegeeza Kitatta wakubeera mu kkomera okumala okumala ebbanga eritamanyiddwa okutuusa abakulu lwe banakomawo...

Teija1 220x290

Bamalaaya banyaze munnansi wa Ethiopia...

POLIISI ekoze ekikwekweeto mu loogi z’oku William Street n’ekwata abakazi mukaaga abakola obwa malaaya abagambibwa...