TOP

Saagala musajja wa bigambo bingi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th May 2016

Agamba ki akasula ku mutima? Emyaka gye nnina teginnatuuka kulowooza ku basajja. Ggyo olina emeka? Emyaka nnina 22 gyokka.

Lillian2 703x422

Lillian

Sswiiti langi yo n’akasusu nga birabika bulungi! Mukama y’agaba nange nneesanga bwentyo.

Kale sooka ompe ku nnamba y’essimu. Nze sigaba nnamba yange.

Kati akwagala akusanga wa? Annoonyeza Muyenga.

Ye owange erinnya lyo ery’ekimbejja lye liruwa? Siri mumbejja, nze Lillian Ruzindana.

Okola mulimu ki? Ndi mwolesi wa misono wabula nga nkyasoma mu yunivasite e Makerere.

Wali weegomba kufuuka ki okuva mu buto? Nali nneegomba okubeera nnalulungi wa Uganda wadde tekyasoboka naye bannonze ku bwannalulungi wa yunivasite zonna mu Uganda.

Kiki ekikufuula ow’enjawulo ku bawala abalala? Ekisooka ndi muwala atya Katonda, amanyi kye njagala ate nga kinkolera.

 

Agamba ki akasula ku mutima? Emyaka gye nnina teginnatuuka kulowooza ku basajja. Ggyo olina emeka? Emyaka nnina 22 gyokka.

Kati abasajja tebakukwana? Naawe ntunuulira bulungi, ekyo okiraba bulabi nti balina okunkwana naye mmanyi kye njagala.

Musajja kika ki gwe wandyagadde okufumbirwa? Atya Katonda nga mulungi ate nga ne ssente zimuyitaba.

Ssinga Katonda akuwa omukisa n’obeera omusajja mu lunaku lumu, wandituukiridde otya omukazi akukubye? Sandyeyogeddeko nnyo kuba abakazi baakoowa abasajja ab’ebigambo ebingi, baagala nnyo ebikolwa.

Bubaka ki bw’oyagala bugende eri abawala abalungi nga ggwe? Bamanye nti okutya Katonda amagezi mwe gasookera n’ekirala nti okwegabula eri abasajja kyonoona obulungi bwabwe.

Ebiseera byo eby’eddembe obimalako otya? Ntera kukola dduyiro n’okuwuliriza omuziki.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa