TOP

Ndi muwala mulungi ggwe olaba otya?

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2016

Ani oyo akusula ku mutima gw’omalirako ebirowoozo byo? Mbadde nkyamwetegereza. Tumaze naye emyaka mukaaga nga tuli mu laavu naye sinnasalawo.

Man1 703x422

Mbuulira amannya go nkuwe ky’osinga okwagala.

Leah Boke, kati yanguya ekirabo kyange.

Ye maama, erinnya nga liringa lya bannalulungi?

Era ndi mulungi, ggwe tondaba?

Ani akuteekamu ssente?

Nze nessaamu kaasi kuba ndi mukazi mukozi.

Okola mulimu ki?

Ndi mwolesi wa misono, kwe ngatta okukola ku kisaawe ky’ennyonyi.

Ani oyo akusula ku mutima gw’omalirako ebirowoozo byo?

Mbadde nkyamwetegereza. Tumaze naye emyaka mukaaga nga tuli mu laavu naye sinnasalawo.

Olwo nze toyinza kumpaayo mukisa gwonna?

Simanyi oloota? Nze saagala ate sinoonya.

Kitundu ki ku mubiri gwo ekisinga okukuba abasajja?

Ffeesi yange ngyekakasa era sinenya muntu agiroberako.

 

Omulimu gwo ogwenyumirizaamu ki?

Sitoma kuba guntambuzza mu bifo bye nali sisuubira kutuukamu era nsanze abantu ab’enjawulo bangi.

Olina emyaka emeka?

Ekyo nsaba tukireke.

Nedda tofaayo ndi mwetegefu okukikiriza gyonna gy’onoηηamba.

Kale nnina 20.

Olabirira otya omubiri gwo okugukuumira ku mutindo?

Ebintu byonna mbirya naye amagi n’ekyennyanja sibyesembereza.

Walina emyaka emeka bwe wasooka okugwa mu mukwano?

Gyali 17 era olunaku olwo sirirwerabira.

Muntu ki gw’osinga okwagala mu bulamu bwo?

Maama wange teri amwenkana.

Olowooza lwaki abafumbo baawukana mu maka?

Obuteewa kitiibwa n’obuteesigaηηana.

Mpozzi nkufuna ntya?

Mpandiikira obubaka ku facebook, noonya Leah.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’