TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Okunyirira kuno kw’olaba tekuliimu nnusu ya musajja

Okunyirira kuno kw’olaba tekuliimu nnusu ya musajja

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2016

Kiki ky’osinga okwewulira ku mubiri gwo? Naye obuuzizza ekirabwa ne muzibe, oli mwana muto atasobola kulaba nti Mukama yampa emimwa emirungi, ekiwato, n’eriiso eby’akabi?

Temuli 703x422

Amannya go nnyabo?

Sha, ng’obiyisa mu bwangu, ye osiibye otya? Nze Maureen Naluwooza.

Nsonyiwa obutakubuuza, mbadde ngezesa mpisa zo naye nkizudde bambi ozirina.

Anti ndi muwala Muganda eyakuzibwa era baatuyigiriza okusooka okubuuza abantu.

Omusomi wa Bukedde yandyagadde okukutegeera okusingako awo, olina obusobozi obwennyonnyolako?

Sikirinaako buzibu. Amannya nagakugambye, nnina emyaka 24, mbeera Munyonyo okuliraana Speke Resort, banzaala

Luweero, siri mufumbo ate njagala nnyo omuntu alumirirwa abalala. Saagala muntu yeesoma ekisukkiridde, njagala nnyo

Obwakabaka ssaako n’eddiini gye nsoma ey’Obukatoliki, mpoomerwa omuceere n’ekyennyanja ekitali kisiike.

Kiki ky’osinga okwewulira ku mubiri gwo?

Naye obuuzizza ekirabwa ne muzibe, oli mwana muto atasobola kulaba nti Mukama yampa emimwa emirungi, ekiwato, n’eriiso eby’akabi?

Kati mu by’omukwano oyimiridde otya?

Okubeera mu by’omukwano waakiri nsomawo Bayibuli oba okulowooza ekintu kye naggyamu ssente kubanga kaabe

mwavu oba mugagga bonna omukwano gubakaabya kati mbigenda mpola.

Okola mulimu ki mw’oggya ku kasente akakubeezaawo?

Ndi muzannyi wa katemba era munnamawulire. Bino bye binnyambye okutambuza obulamu bwange nga temuli nnusu ya musajja.

Kiki ky’otosobola kulyazaamaanya mu nsi?

Ekimu ekyekkumi, tteeka gyendi okukiwaayo ate mu bujjuvu kubanga nange kinnyamba okwongera okufuna ssaako n’okuwangayo ettoffaali mu Bwakabaka bwa Buganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....