TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Nnyirira okukira ekibala kya ‘appo’

Nnyirira okukira ekibala kya ‘appo’

By Musasi wa Bukedde

Added 20th April 2017

Olwo oyo kiki kye yakola ekyakutengula omutima kubanga kirabika topakukirwako? Namala akabanga nga mmwetegereza ne mmuzuulamu bye nnali noonya ate aweesa ekitiibwa.

Consuming 703x422

Nnyabo waliwo wali akwagala.

Ate agamba ki, nze nga obudde bumpiseeko?

Hmm, agambye siddayo nga sikulina.

Anti nkubuuzizza agamba ki?

Mbu endabikayo emuwunzizza.

Hmm, mukwano nze ηηenda mangu obudde bumpiseeko.

Bambi muweeyo akadde, tomanya alabika ensonga z’akugamba nkulu.

Mugambe sirina kadde, nnina omulala gwe nkawa si buli omu.

Bambi nnyamba nze simanyi bwe naamutunuulira nga nzizeeyo.

Hmm, naawe nno olemerako, akusasudde mmeka nzikuwe ozimuddize?

Bambi tonvaamu mugambye sisobola kulemererwa kukutwala, ηηenda kuswala okuddayo nga bwe nnazze.

Abalungi tulina ennaku, buli nswera evaayo egwa ku ffe.

Naye weebale kunyirira, ye okikola otya?

Situleesi bw’ejja sigiganya kumbeerako, ngyegobako mangu.

Naye olabika ng’atera okubeera mu nsi z’ebweru kuba be babeera n’ensusu ng’olulwo.

Nedda nze ndi mwana wa wano sigendangako bweru, anti okimanyi Uganda zaabu n’abanyirira nga ffe otusanga muno.

Engeri gy’onyumyeemu olabika olina gw’ogenda okusisinkana?

Oli mu ansa mw’ozannyira, ηηenda kusisinkana ‘Mr. Handsome’ wange.

Olwo oyo kiki kye yakola ekyakutengula omutima kubanga kirabika topakukirwako?

Namala akabanga nga mmwetegereza ne mmuzuulamu bye nnali noonya ate aweesa ekitiibwa.

Mu bibala kiki ky’osinga okwagala okulya?

Njagala nnyo ‘appo’.

Lwaki gy’osinga okwagala?

Anti nnyirira nga yo.

Naye olabika ku mubiri gwo akabina okeewulira?

Si kokka, buli kimu kye nnina kyekyo nange neetya.

Olwo ne bukya n’owulira nti omulenzi wo agenda bweru nga takubuulidde okola otya?

Nsobola okukitegeera ssinga ampa ensonga erimu eggumba emuviiriddeko okusalawo okukola bwatyo.

Kiki omulenzi wo ky’ayinza okukola n’onyiiga?

Obutanzikiririzaamu kinjabya omutima.

Olwo ggwe muze ki gw’olina gwe weemanyiiko?

Nze gw’olaba nnyinza okutunuulira omuntu ne mmumalamu ne langi ssinga abeera ayambadde ng’anyumye kubanga njagala nnyo abantu abanyumye.

Nsaba kumbuulira ku mannya go ne gy’okolera nkuleke ogende osisinkane omwagalwa.

Nze Shadia Nalubwama, nnina edduuka erimu lye nkoleramu ku Kaleerwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...