TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Bwe mba mu mukwano ngejja ne nnyirira

Bwe mba mu mukwano ngejja ne nnyirira

By Musasi wa Bukedde

Added 27th April 2017

Nze nkusiimyeko amaaso go kubanga malungi naye basajja bannange eyo gy’otera okuyitira ki kye basinga okukuwaanako? Nze nkwewuunyizza musajja ggwe bw’oba ng’osobodde kulaba maaso gokka n’otolaba kabina!

Bampa 703x422

Nga ndi wa mukisa okusisinkana omulungi kaalaala nga ggwe!

Leka naawe, bayita abalungi ng’otwala nze Cathy waabwe?

Kati no n’amannya amalala googere ekyo tukite?

Nze Catherine Kerubo Omori.

N’eky’emyaka ne gy’osula nabyo njagala okubimanya.

Eeh, ng’oli siriyaasi bulala! Emyaka nnina 22, nsomera Kisumu mu Kenya naye nga ndi Munnayuganda, ewaffe Munyonyo. Ndi muyizi asoma mu Koseno University mu mwaka ogwokuna nga nsoma bya butonde bwa nsi. Mbuuza ekirala.

Olususu lwo nga lutukula bulala, kirabika oluwa obudde?

Era munnange neeteekamu ssente ku bikwatagana n’olususu lwange era lunsingira embaga etanyumye. Naye era ntera okukozesa ebizigo bya ‘Cocoa butter.

Obudde bwo obw’eddembe osinga kubumalirako wa?

Njagala nnyo okusoma Bayibuli ssaako n’ebitabo ebirala ebikwatagana n’eddiini.

Simanyi oli mufumbo, ng’oyogera omaguka ng’alina gw’otya okukusanga?

Hahaha!! siri mufumbo naye nninayo gwe mpepeya naye, nsuubira nti y’anaavaamu omulamwa.

Kiki ekisinga okukusanyusa mu bulamu bwo?

Nze munnange buli lwe ngwa mu mukwano omutuufu ngejja era mba musanyufu emirembe gyonna. Ate ne bwe nfuna obubonero obulungi mu bigezo nakyo kinsanyusa.

Obugoye obw’omulembe bw’oyambala, obugulako wa?

Engoye zange nzigula mu katale ka Owino n’ebifo ebirala kasita luba nga lunsanyusizza era nga luntuuka.

Kati bwe nkusaba okukutwalako ku kyemisana, oyinza kusaba mmere ki?

Mpoomerwa nnyo ekyennyanja n’akawunga ka kasooli mpozzi n’ebivaavava.

Nze nkusiimyeko amaaso go kubanga malungi naye basajja bannange eyo gy’otera okuyitira ki kye basinga okukuwaanako?

Nze nkwewuunyizza musajja ggwe bw’oba ng’osobodde kulaba maaso gokka n’otolaba kabina!

Nze nnina akabina akanene era ntambula mpaapaaza. Kale tumira b’oyagala.

Ntumira mikwano gyange gye nsoma nagyo mu Kenya ne mikwano gyange egy’e Kampala nga mbasaba okubeera abakozi ennyo kubanga ensi ya kukola n’okutya Katonda kubanga y’ensibuko ya buli kirungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...