TOP

Ffe abasajja bayaayaana okutuwasa

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2017

Wamma mbu abawala b’e Kyambogo be bakyasinze okubeera aba layisi mu nsonga z’akaboozi? Ani yakugamba? Ebyo biboozi by’aba booda, nze sikimanyi kubanga ffe tulina empisa ky’ova olaba ng’abasajja baagala nnyo okutuwasa olw’empisa….. Towakana.

Wama 703x422

WAMMA ennaku zino abawala mbu mwegumbulidde omuze gw’okulimba nga bwe muli mu bapaasita mukuba ttendo kyokka nga muli mu bwenzi, naawe obikola?

Hahaha... anti ennaku zino bapaasita bayitiridde ate bw’ogamba omuntu nti oli wa paasita tawakana alowooza oli mu kusaba.

Olulala lwe ndiddamu okukusanga nkuyite mannya ki?

Nze Vicky Najjemba nga mbeera Wandegeya.

Okola mulimu ki nnyabo?

Ndi muzannyi wa fi rimu mu kibiina kya Lmedia nga nsomera mu Kyambogo University.

Obulamu obusanga otya mu kibiina kino?

Obulamu bulungi kubanga ekibiina kino kitukumaakuma wamu ng’abavubuka.

Omuntu akulaba obulabi kiki kye wandyagadde akumanyeko?

Ndi muwala omugezi ddala era bazadde bange banninamu essuubi lingi.

Wamma mbu abawala b’e Kyambogo be bakyasinze okubeera aba layisi mu nsonga z’akaboozi?

Ani yakugamba? Ebyo biboozi by’aba booda, nze sikimanyi kubanga ffe tulina empisa ky’ova olaba ng’abasajja baagala nnyo okutuwasa olw’empisa….. Towakana.

Naye batugamba nti hositeero zammwe gye musula mubeera ng’abali mu bufumbo, muleetayo n’abasajja ne musula nabo?

Ekyo kituufu abaana abawala n’abalenzi bakikola naye kisinziira ku hositeero omwana gy’asula. Ezimu zirina amateeka bwe bakukwata bakugoberawo, ate abavubuka abeereeta mu hositeero z’abawala babeera ba layisi siraba lwaki mbeera mweriraanya.

Ate eky’okweyambulira ba ‘lecturer’ babongere obubonero ?

Bagamba omulyammamba abeera omu n’avumaganya ekika naye nze sisobola kukikola kubanga nsoma ebitabo byange era abeeyambula be batalabikako mu kibiina nga tusoma.

Ani yakusikiriza okuzannya ffirimu?

Wano mu Uganda Mariam Ndagire ate ebweru Mercy Johnson ow’omu Nigeria.

Waakazannya ffirimu mmeka?

Nzannye ffirimu nga Hustler ne Compus life ng’eno eraga obulamu abawala n’abalenzi bwe bayitamu nga bali ku yunivasite.

Bw’osanga ddaali wo ng’anywegera muganda wo okola otya?

Haaaa muganda wange?... ha abaako omuntu omulala, mmukyawa, ne musabira ne ‘Nooveena’ Omukama n’amulamula.

Okusinziira ku ndabika yo olabika oli mukyala mwambazi, engoye zo ozigula wa?

Nzigula mu Kampala naye nga nsinga kwettanira emisono egiri ku mulembe.

Kintu ki kye wakola mu buto ky’otolyerabira?

Haa.. Nakaabanga nnyo mu buto naye nga buli lwe nkaaba nga maama ankuba.

Eyandyagadde okweyongera okulabako akusanga wa?

Ansange ku Theater Labonita nga June 16. nga Lmedia tutongoza fi rimu yaffe empya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...