TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Maama ye yangabira ku kaseko k’olaba...

Maama ye yangabira ku kaseko k’olaba...

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd May 2017

Ssinga olaba omusomesa wo nga tasibye zzipu kyokka ng’ali mu maaso gammwe asomesa okola otya? Hahaha, wabula nsooka kusekamu kubanga abasomesa abamu babeera n’obujanja, oluvannyuma ηηenda ne mmukuba akaama nti; “Mutaka anaatera okutoloka..”

Timpu 703x422

Mukwano anyirididde mbadde nsaba kwogerako naawe. Weebale kusiima bambi.

Otyo obadde ogamba ki?

Waliwo omusajja amaze emyezi 4 ng’akulaba era akwegomba. Abadde ayagala kukusisinkana.

Hahaha nga yansanga wa, naye bw’aba talina buzibu ayinza okunsanga mu kifo eky’olukale ne twogera.

Wamma kituufu olina abasajja 4 b’obiita?

Nze? Nedda bambi sirina musajja era sinoonya, nkyalinzeemu.

Bw’oηηamba ku mannya go ne gy’obeera kikukola bubi?

Nze Sharon Nantege, mbeera Buziga.

Abawala b’e Buziga nga mumanyi okwambala, simanyi mmwe mweteekamu ssente?

Hahaha kyekyo tweteekamu ssente ne tushanana.

Engoye muzigula mu katale k’e Buziga oba muziggya mu ‘botiiki’?

Hahaha tonsesa naawe wakyaliyo abawala abagula engoye ennungi mu butale? Twambala za botiiki, twalinnya ebbeeyi.

Okola mulimu ki?

Ndi muyizi mu yunivasite y’e Kyambogo ate era nzannya ne firimu mu kibiina kya Lmedia Group. Nzannye firimu eziwerako wadde nga era nduubirira kufuuka ‘Star’. Nzannye fi rimu nga Imperfect Life, Her Life ne Campus Life.

Kiki ky’ofunye mu kuzannya  firimu.

Kinnyambye okusisinkana abantu ab’enjawulo.

Ani yakusikiriza okuzannya firimu?

Faridah Ndawusi ate ebweru wa Uganda nnyumirwa omukyala Angelina Jolie ate ayigiriza.

Ssinga olaba omusomesa wo nga tasibye zzipu kyokka ng’ali mu maaso gammwe asomesa okola otya?

Hahaha, wabula nsooka kusekamu kubanga abasomesa abamu babeera n’obujanja, oluvannyuma ηηenda ne mmukuba akaama nti; “Mutaka anaatera okutoloka..”

Ekikunsanyusizzaako ke kaseko ku matama kalimu kyama ki?

Haha, njagala nnyo okumweenya era maama ye yangabanyizaako ate bwe weenyiiza okaddiwa.

Wabula abawala lwaki temukyatya kuganza basajja bafumbo?

Naawe okimanyi tekyali musajja w’omu kubanga abasajja baafuuka ba bbula kasita akikweka omukyala w’awaka abeera ku katuufu.

Kale ssinga osanga muganzi wo ng’ayambudde mukwano gwo ali mu kumugabira byalo okola otya?

Kyokka ggwe, nsirika ne mmuviira.

Muntu ki gw’otandyagadde kusiiba lunaku nga toyogeddeeko naye?

Oyo ye maama wange omulungi, Muky. Maria Kiganda era mmwagala nnyo.

Lunaku ki lwe wasemba okukaaba era ani eyakukaabya?

Nasemba kukaaba ku ssomero omusomesa wange owa History bwe yankuba oluyi nga sirina kye nkoze, oluyi si lwe lwa nkaabya wabula kumbonerereza bwereere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...