TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Ku ‘Campus’ omusajja alina y’alya

Ku ‘Campus’ omusajja alina y’alya

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2017

Lukia libeera linnya lya Basiraamu ate ndaba weekapise empale olowoza tovvoola ddiini yammwe? Nedda ssebo tekirina makulu kusiiba mu ‘sharia’ ng’ekiro onywa omwenge. Nze nnina eddiini ku mutima.

Ana 703x422

NNYABO mbadde nkubuuza erigenda ku Yunivasite y'e Kyambogo?

Ngoberera kuba nange gye ndaga. Nga nfunye omukisa okukusanga.

Bw’ombuulira ku mannya go ne gy’obeera ne tweyongerayo nga tunyumyamu kikukola bubi?

Nze Lukia Nakidda wabula agantunda mpitibwa Lukizies Salamida nga mbeera Namungoona era nsomera mu Kyambogo Yunivasite.

Oyogedde ku mannya agakutunda; okola mulimu ki?

Ndi muzannyi wa firimu mu kibiina kya Lmedia ekisangibwa e Banda.

Eeee ennaku zino abawala mwettanidde nnyo okuzannya firimu, zirimu kyama ki?

Nze ku lwange nazaagala kuva buto kuba nayagalanga okuziraba n’okuzizannya. Njagala kufuuka ssereebu mu firimu.

Obulamu ku yunivasite obusanze otya?

Obulamu si bwangu naye ekikulu kubeera musanyufu na kusoma.

Ssinga oba ofunye ekisajja ekikulu nga kikuteekamu ssente ku ssomero okikkiriza?

Hahaha anti naawe okimanyi nti ku ‘Campus’ alina y’alya. Abawala tubeera n’ebyetaago bingi nga tusoma ate abazadde byonna tebasobola kubitutuusaako. Kati bw’ofunayo omusajja alina ssente embeera ekwanguyira.

Ky’ogamba nti bw’ofuna nga bana abalina ssente ofuuka binojjo?

Yee kuba era waliwo ababalina. Naye nze abana sibasobola. Njagala omu.

Oyogedde ku kuzannya firimu, waakazannya mmeka?

Naakazannya firimu nga Saamanya ne Campus life. Eno yo eragira ddala obulamu bwe tuyitamu nga tuli ku Yunivasite.

Batugamba nti abawala mwekwanira abasomesa musobole okufuna obubonero? Wamma kituufu?

Ekyo kituufu naye nze sikikolangako. Nnina amagezi gange era neemalirira. Abakikola ne bw’obasanga nga bamaze okubatikkira babawa emirimu ne gibalemerera.

Bintu ki by’osinga okukola mu budde bwo obw’eddembe?

Okulaba firimu, okuwuga mpozzi n’amazina.

Lukia libeera linnya lya Basiraamu ate ndaba weekapise empale olowoza tovvoola ddiini yammwe?

Nedda ssebo tekirina makulu kusiiba mu ‘sharia’ ng’ekiro onywa omwenge. Nze nnina eddiini ku mutima.

Omusajja alina omukwano ogwa nnamaddala omulabira ku ki?

Haaa ennaku zino kizibu okusanga omuntu alina omukwano ogwo. Nze ndowooza gwasigalira mu firimu naye bw’ofuna omwagalwa omuwa akadde bw’akukolera by’oyagala ng’ate takugattika nze ηηamba oyo aba ali ku kituufu.

Kiki ky’otoyinza kumala lunaku nga tolidde?

Wabula mpoomerwa ettooke era sitera kumala lunaku nga siririddeeko.

Bw’oba tozannya firimu obeera okola ki?

Mbeera wano ku ‘Campus’ nga nsoma.

Ky'ogamba togendako mu kibaala, ntegeeza mu ndongo?

Eyo ηηendayo naye lumu na lumu.

Ntanda ki gy’osibirira abawala abalina talanta nga bazituulidde?

Kye bakola si kituufu kubanga ennaku zino emirimu si myangu kufuna noolwekyo bw’oba ne talanta yo, gy’oleke osanga onaafuna akuyamba okufuna ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega...

Ebya ssentebe w’akatale k’e Busega babitaddemu Kitatta

Top2 220x290

Eby'ewunyisa ebyabadde mu kuziika...

Eby'ewunyisa ebyabadde mu kuziika mukoddomi wa Ntakke!

Dat2 220x290

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga...

Enkuba esudde ekikomera ky'omugagga n'ekitta abantu 8!

Bug2 220x290

Paasita Bugingo atabukidde abasumba...

Paasita Bugingo atabukidde abasumba abaagenze okumutabaganya ne Teddy

Mazzi2 220x290

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano...

Enkuba egoyezza Bannakampala n'emiraano