TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Tonnyumiza muvubuka mulungi nga tampa kaasi: ηηenda n'omubi ampa

Tonnyumiza muvubuka mulungi nga tampa kaasi: ηηenda n'omubi ampa

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2017

Ku musajja omubi ng’akuwa ssente n’omusajja omulungi nga takuwa ogenda n’ani? Obulungi tebabulya, nze ng'enda n’omubi ng’ampa.

Panta 703x422

Nnyabo ebintu bye wantuma okuva mu kyalo mbireese nsonyiwa okulwawo?

Gwe ssebo ajja azunga n’obuyembe obuto bakugambye nti ndi lubuto.

Eee, maama gwe atabeerangako lubuto otegedde otya nti ab’embuto be balya obuyembe obuto?

Kale ne bwe wandireese egyengede ani akugambye nti nze bankwanira ku miyembe?

Ekituufu buno obuyembe mmaze kukulaba ne mbunoga wali, ye otegedde otya nti nzize kukukwana?

Naye abavubuka ku kyalo kino mumbeeredde ki?Mpozzi oyagala nkukole kye nakoze oli eyazze ne ffene alimu n’amasanda.

Hihihi, kale ka mbusuule, naye sooka ombuulire kati bwe yazze ng’akugamba ki?

Mbu kano kaffene kaviira ddala ku ntobo y’omutima gange., ho, genda omubuuze ekyaddiridde.

Kati eno firimu kye nzudde yabaddeko ‘firimu ssita’, sooka ombuulire bamuyita ani?

Ye Bridget Asiimwe.

Otyo, firimu eno mw’agyizannyidde mu kitundu ki?

Wano wennyini w’onsaze e Sseguku.

Kati nnyabo bw’oba ffene omuto n’obuyembe tobirya, kiki ekikunyiriza bwe kityo?

Njagala nnyo amata ga yogati ne ayisikuliimu.

Nnina ka firimu k’omukwano ke mbadde nnaze tuzannye ffembi naye nga nze ‘firimu ssita’ kinaakuyisa bubi?

Shaa, eyo waliyo eyakusooka okugizannya ate aginzannyira bulungi.

Ng’oggyeeko okukuwa obuyembe obuto ne ffene, biki ebirala ebyakutamya abasajja naddala abakukwana?

Bakopi tebakimanyi nti omuwala omulungi bamuteekamu ssente okufuna omutima.

Kwe kugamba abazannya firimu z’okukwana nga tebalina ssente ewuwo tebazunga?

Eeh, ggwe ani akugambye nti nfa ssente, nange nnina ezange ze nneeteekamu ne nnyirira!

Ku musajja omubi ng’akuwa ssente n’omusajja omulungi nga takuwa ogenda n’ani?

Obulungi tebabulya, nze ng'enda n’omubi ng’ampa.

Bubaka ki bw’owa abasajja abatayagala kuteeka mu bakazi baabwe ssente?

Tosobola kukama nte nga togiwa biwata, bagume abazirina babayambeko bajja kuyiga okugaba. Mu butuufu eby’okukwana nabivuddeko dda, wabula mpaayo omusomi wa Bukedde omu gw’osinga okwagala? Ntumirako taata wange bambi weebale kunjagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup