TOP

Kasita ombiita ng’ebyange obifuna

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2017

Nze nkusiimyeko simayiro, abalala bakuwaanako ki? Nze nkwewunyizza bw’oba osobodde kulaba simayiro yokka n’otolaba magulu gange! Nze nina amagulu amalungi agaleka abasajja nga basamaaliridde.

Kwata 703x422

Ndaba ku ki Mumbejja wange?

Ani Mumbejja wo?

Kirabika toli mwangu?

Mbeera mwangu eri oyo gwe mmanyi.

Kale ggwe ani ?

Nze Lisa Nambalirwa abasing bamanyi lya Lisa.

Wakulira wa awataali basezi?

Wano e Lungujja.

Olususu olusiiga ki?

Ndya bibala n’okunywa amazzi.

Naye kiki ekikufuula owakabi?

Mbeera musanyufu obudde bwonna.

Simanyi oli mufumbo?

Siri mufumbo naye nninayo gwe neetegereza era nsuubira nti y’aliba ku kituufu.

Obugoye obw’omulembe bw’oyambala, obugula wa?

Nzigula mu butale, amaduuka n’ebifo ebirala kasita luba nga lunnyumidde.

Nze nkusiimyeko simayiro, abalala bakuwaanako ki?

Nze nkwewunyizza bw’oba osobodde kulaba simayiro yokka n’otolaba magulu gange! Nze nina amagulu amalungi agaleka abasajja nga basamaaliridde.

Obudde bwo obw’eddembe osinga kubumalira wa?

Njagala nnyo okusoma ebitabo n’okubeerako ne famire yange.

Kikutwalira bbanga ki okwegatta n’omusajja akukwanye?

Alina okufuba okunsanyusa ennyo n’okumbiita kuba nsobola okukkiriza ne ku lunaku lwennyini lwe mmulabye.

Muntu ki gw’oyagala okufaananya ebikolwa?

Juliana Kanyomoozi.

Kale tumira ku bantu bo, n’abasomi ba Bukedde baweeyo obubaka obusembayo?

Nkubiriza abawala okunyiikira okwekolera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....

Panta 220x290

Gavumenti ereeta amateeka amakakali...

Amateeka gavumenti g’ereeta okulung’amya ensiike y’okuyimba gasattiza abayimbi. Waliwo abatandise okuyomba nga...

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...