TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Bw’ompa onoonya muwala ‘origino’ ontuuseeko...

Bw’ompa onoonya muwala ‘origino’ ontuuseeko...

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2018

Gwe ssebo olwo olususu lulya mukene? Nze nno sirina ky’amaanyi kye ndya okuggyako ettooke n’ennyama y’embuzi. Mpozzi ng’attako Yogurt. Naye endabika eraga nti bakuzaala Mbarara. Nedda ssebo, siri weeyo naye ngwayo mpolampola kubanga nninayo abantu bange.

Sanyu 703x422

Kyana ggwe Kemi ng’olabika bulungi. Ani akussaamu ssente?

Tewali kye nkozesa wadde anteekamu ssente. Bwentyo bwe nazaalibwa. Ndi ku origino.

Ekitegeeza omwami wo akuwa emirembe n’olabika bulungi?

Eby’abasajja tetubigendamu kubanga simulina ate sinoonya. Naye waliwo alyawo ku kabalaza agezaako okuntaayiza.

Mpozzi gwe ani amannya?

Nze Kemisera owa Kream Productions.

Mu Kream Productions ofumba caayi oba oli muyimbi?

Ndi muyimbi nga nze nayimba ennyimba nga Akagatto, Omponyezza, Omukwano lugoye, ne Malala. Wabula akulabirira mu byokulya alina kwesiba bbiri.

Gwe ssebo olwo olususu lulya mukene?

Nze nno sirina ky’amaanyi kye ndya okuggyako ettooke n’ennyama y’embuzi. Mpozzi ng’attako Yogurt. Naye endabika eraga nti bakuzaala Mbarara. Nedda ssebo, siri weeyo naye ngwayo mpolampola kubanga nninayo abantu bange.

Wasoma by’akuyimba oba? Ye wasomera wa?

Pulayimale nagisomera Kakuuto ate siniya Buloba High kati ninze kweyongerayo nga mmaze okukwanaganya omuziki.

Kiki ekikusanyusa?

Kuyimba nnyimba zange abantu ne bazaagala. Okuziwulira ku leediyo ne ttivvi ne mu mawulire nga banjogerako bimpa emirembe.

Kiki ekikunyiiza?

Saagala muntu annimba kubanga njagala nnyo amazima

Naye ggwe ogalina?

Nze simanyi kulimba.

Langi ki ezikukolera?

Enzirugavu kubanga eggyayo langi yange ne njaka.

Biki bye weesigamyeko okukutuusa waggulu eyo mu muziki?

Essaawa eno nnina vidiyo gye natuumye Amalala egenda okuntambuza mu 2018.

B’ani abo abanaatya?

Ab’ebibiina ebirala n’abayimbi b’owulira abaliko balina okukimanya nti nange nzija.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...