TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Sirina gwe nzannya naye firimu za kiro...

Sirina gwe nzannya naye firimu za kiro...

By Musasi wa Bukedde

Added 6th October 2018

Ye maama... Ali atya gw’ozannya naye firimu ez’ekiro nga muli babiri mwekka?

Siba1 703x422

NNYABO sooka oyimirire osibe bulungi obuguwa bw’engatto zo tebukukuba ekigwo...

Eeeh!! Bambi weebale anti mbadde mpapa.

Kiki ekyo ky’opakuka okusanga? Ennyumba yo ekutte omuliro oba waliwo akugoba?

Nedda bambi nnyanguwa kugenda mu kwegezaamu anti ndi muzannyi wa firimu.

Nga mbadde sikumanyi... bakuyita ani?

Nze Anna Maria Nanyonga.

Ate ekyalo gy’obeera?

Mbeera Munyonyo.

Kati zo firimu wazitandika ddi okuzizannya?

Mu 2016.

Wamma kituufu oziruddemu. Ozannye frimu ki?

Nataliya, Si byangu, Akattambwa n’endala nnyingi nnyo.

Muzannyi wa Binnayuganda ki gwe weegomba?

Rogers Kasozi

Ng’oggyeeko obutaagaliza, olowooza kiki ekisinga okutabula abazannyi b’Ebinnayuganda ne batuuka n’okwawukana?

Kasita mulemwa okukwatagana mu by’ensasula temuyinza butaawukana.

Ng’oggyeeko okufuna ssente, walina kigendererwa ki ekirala ekyakuwaliriza okutandika okuzannya firimu?

Nayagala nsomese abantu nga mpita mu kuzannya firimu.

Nkulaba okyali muzannyi muto. Osuubira kutuuka ku ddaala ki mu myaka musanvu okuva kati?

Bwe neetunulamu nsuubira okuba omuzannyi asinga okusasulwa.

Ye maama... Ali atya gw’ozannya naye firimu ez’ekiro nga muli babiri mwekka?

Oyo simulina.

Mukyala ki mu ggwanga gw’osinga okwenyumirizaamu?

Maama wange Agnes Nanteza.

Mulimu ki omulala gw’ofunamu ensimbi?

Ndi dizayina era njolesa misono gya ngoye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...