TOP

Nkoona ku kabina olabe...

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Omusajja bwakukuba ku kabina okola ki? Mutunuulira ne nsigala nga ntambula kuba sikyagalira ddala.

Gatawo 703x422

Maama nyabo, kiki kino kye ndabako!

Hahaha naye naawe onkanze. Mbadde ndowooza waliwo ekiguddewo.

Ggwe tolaba nti ettaala eyaka tebanaginyiga na swiici?

Wabula bannange oyogera, kati ebyo byonna byaki? Nze bwentyo bwe natondebwa.

Naye ate ekyewuunyisa olinga atalina ky’ogattamu.

Munnange nze seeyongerako ng’abakyala abalala, nazaalibwa n’obweru bwange.

Ehh ku musana guno okola otya obutaddugala.

Katonda bwaba yakuwa ekintu abeera yakikuwa n’omutima gumu. Ekyewuunyisa nze ntambula ne mu musana naye siddugala wadde okukyukako.

Okimanyi ku ngeri gy’otukulamu bakuyiwako amata ne baganywa.

Naawe ate tompaana nnyo kutuuka kw’ekyo.

Kye kituufu era nsaasira oyo asula naawe.

Haha olowooza no gy’ali.

Ehhh. Kale bwe mbadde ndowooza.

Haha alabika gy’ali naye eby’omukwano tubiveeko twogere ku bituzimba.

Njagala kutambulamuko naawe naye nkoze ntya?

Okutambula nange tekwandibadde kubi naye ssinga ontwalako okuwuga, kinsingira ekirala kyonna kuba njagala nnyo okuwuga. 

Naye okimanyi obwedda twogera nga sinakubuuza na mannya go?

Nze Anitah Mbabazi

Naye akwagala akusanga wa?

Mbeera Namasuba naye nga nkolera mu kibuga.

Omusajja bwakukuba ku kabina okola ki?

Mutunuulira ne nsigala nga ntambula kuba sikyagalira ddala era kinyiiza.

Engeri gy’onyirira, abasajja tebakufiirako?

Nedda kubanga nnina gwe njagala omu era ne bwebaba bazze sibawa budde. Abankwana bangi naye si buli omu nti onoomuwa obudde.

Singa wali musajja, wandibadde n’abakyala bameka ?

Omukazi omu yandimmaze. Nandinoonyezza omukyala anjagala era ankulaakulanya kubanga ne bw’obeera n’abangi nga tebalina kye bakugattako tekiyamba. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...