TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okwambala damegi tekitegeeza kunnyogoga mubiri

Okwambala damegi tekitegeeza kunnyogoga mubiri

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2019

Wamma bamwambala mpale mbu temumanyi kufumba? Ani yakulimba ekyo?

Sanyu 703x422

Bagamba nti abawala abambala engoye za ‘damegi’ babeera bannyogoga omubiri!

Ekyo si kituufu kuba nkyali na kiwala kito.

Ye kati olina emyaka ng’emeka?

Nnina 20 era ntuusizza okwesalirawo.

Wabula obadde ombuzeeko, simanyi okyabeera Munyonyo?

Ate nga gye banzaala nyinza okuvaayo?

Ky’ogamba okyabeera ne bazadde bo ?

Ssebo ggwe tondaba nga nkyali muwala wa ‘Mummy’?

Ky’ogamba tolinaayo lulenzi lukuwaana?

Oyo gyali naye sinnamwanjula mu bazadde.

Kale mbuulira ku mannya go.

Nze Tasha Bantu.

Okola mulimu ki ?

Ndi muyimbi, nga nnyimba za Laga

Olinayo obuyimba bumeka ?

Ninayo busatu okuli Mmotoka.

Emmotoka otegeeza ki ?

Mbeera mpaana buwoomi bwa mmotoka.

Kati bazadde bo baakukkiriza okuyimba ?

Baasooka kugaana nga baagala nsooke mmale kusoma!

Kati wamalirizza okusoma?

Namalirizza yunivasite omwaka oguwedde era tebaninaako buzibu.

Wamma bamwambala mpale mbu temumanyi kufumba?

Ani yakulimba ekyo?

Kale wakoma ddi okuwaata amatooke?

Wabula kitutte emyezi, ekikulu be mbeera nabo si bali b’amatooke.

Bw’oba toyimba, kiki ekisinga okukunyumira?

Njagala nnyo okulaba Bukedde Ttivvi naddala pulogulaamu y’Oluyimba lwo ate Flavia Namulindwa bwe yakuba akayimba kange kyasukka kati kibeera kivve okumusubwa.

Ate Bukedde omusoma?

Nnyumirwa nnyo emboozi za Kasalabecca kuba ebimu binsesa, n'amaziga ne gajja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera