TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Omusajja anjagala siyinza kumumma ATM kaadi yange

Omusajja anjagala siyinza kumumma ATM kaadi yange

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2019

Oyinza okuba ng’okyetegereza abalala abali ‘sharp’ ne bamukutwalako! Era omuntu bw’abeera nga wuwo akulinda.

Sanyu2 703x422

KU bazadde bo ani yakugabanyiza ku bulungi bw’olina?
Haha… naye ate naawe ompaanye bulala, ndowooza maama eyanzaala kuba okuva
obuto nnyirira.
 
Ssinga obadde musajja n’olaba omuwala anyirira n’omwegomba otandikira wa?
Nsooka kumulamusa ne mubuuza amannya ge olwo ne musaba ennamba y’essimu
tusigale nga twogera.
 
Kati bwakuwa obudde ne mubeera nga mwogera oyinza kuzzaako ki?
Ebintu by’omukwano tebisaana kupapira, bw’abeera ampadde obudde nsooka kwetegereza oba ye muntu omutuufu. Oluusi nnyinza n’okumutwalako ‘awatu’ ne tutuula ne nnyongera okumwetegereza.
 
Oyinza okuba ng’okyetegereza abalala abali ‘sharp’ ne bamukutwalako!
Era omuntu bw’abeera nga wuwo akulinda.
 

 

Muganzi wo bw’abeera n’ekizibu nga ssente z’olina okumuwa zirina kuva ku ATM, oyinza okugimuwa n’azeggyirayo?
Okugimuwa kisinziira ku ddaala lye tuliko; kuba bwe tuba twesigang’ana ate ng’anjagala lwaki mbeera sigimuwa n’agyayo ssente.
 
Omwagalwa wo alabika okuba ng’akwenyumirizaamu!
Ate lwaki nedda!
 
Okimanyi obwedda njogera naye nga sinnamanya mannya go.
Nze Gasha Muton ow’e Bukoto.
 
Naye okola mulimu ki ogutakuddugaza ku bweru bwo?
Ntunda buviiri kwe ngatta n’okuyimba.
 
Obwedda ndi na sserebu nga simanyi, olina kayimba ki abantu ke bamanyi.
Nina ennyimba nnyingi naye waliwo lwe naakafulumya oluyitibwa Nyukuta.
 
Gy’otambulira omusajja n’amala akukoona ku kabina oba ku bbeere okola otya?
Haaa!!! Nsaba kireme kuntuukako kubanga simanyi kye nyinza kumukola ng’obusungu bunninnye.
 
Ky’ogamba kikwasa obusungu, mbadde manyi oyinza okukyagala.
Abakola ekyo babeera bayisaamu bakazi maaso.
 
Ky’ogamba oyinza okumukuba oluyi?
Nakyo bwe kiba kisoboka ndumuyisaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...

Ebibuuzo ebikyebuuzibwa ku nfa...

AMAZE ekiseera ng’atambulira mu kutya. Emirundi mingi wadde alina emmotoka nnyingi awaka, abadde azirekawo n’atambulira...

Panda 220x290

Omugagga eyakubiddwa essasi afudde...

Omwaka oguwedde, Jabar Alseyed yakwatibwa abajaasi b’ekitongole kya CMI ng’ateeberezebwa okubaako ky’amanyi ku...

Yimba 220x290

Ebipya bizuuse ku mugagga eyattiddwa...

GEN. Jeje Odongo yagenze mu ddwaaliro ng’ayagala okuzuula ekituufu ku ngeri mukwano gwe gye yakubiddwa essasi ne...

Everywarlordsfavouriteassaultrifleisgettingrebranded324bodyimage1417556752 220x290

Poliisi ekutte abazigu 9 n’emmundu...

POLIISI egudde ku kabinja k’abazigu akalala akabadde katigomya ebitundu bya Bwebajja ne Ntungamo n’ekwatako mwenda...