TOP

Obuzibu bwange nnina ensonyi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2019

Njagala kusooka kumaliriza misomo gyange nfune n’omulimu ogunsasula obulungi ndyoke mbirowoozeeko.

Buza 703x422

Mwanamuwala kakodyo ki ke weeyambisa okunyirira nange nkagezeeko?

Nnywa nnyo amazzi ate ndi “designer” era ebyokwambala mbitegeera bulungi. Mbadde mmanyi waliwo akuteekamu ebinusu?

Oyo sinnamufuna kuba ndi musanyufu n’engeri gye ntambuzaamu obulamu bwange. Obulamu obutambuza otya?

Anti nkyasoma ate nga tulinayo ne ka bizinensi ka famire ak’okwambaza abantu obuwero obw’akabi mu kibuga.

Ebyo byokka bye bikulemesezza okwefunirayo omuntu akubiita?

Njagala kusooka kumaliriza misomo gyange nfune n’omulimu ogunsasula obulungi ndyoke mbirowoozeeko.

Osomera wa ?

Ku UMCAT.

Akwepikira alina kubeera atya?

Njagala nnyo omuntu ow’amazima ate ng’awa ekitonde ekikyala ekitiibwa.

Ekitegeeza abalina ssente zaabwe tebatawaana kwewandiisa gy’oli!

Kirabika tontegedde bulungi; njagala nnyo ow’amazima ate ng’awa ekitonde ekikyala ekitiibwa kyokka sikugambye nti ebintu ebiralala nga ssente, endabika n’ebirala sibyagala. Omusajja yenna alina okubeera n’obusobozi obulabirira amakaage.

Tubeerako n’ebintu ebisookerwako byoyinza okutandikirako okupima omuntu gw’onoowa omutima gwo wadde nga n’ebirala obeera obyetaaga.

Bintu ki abasajja bye bakola ne bikunyiiza?

Okukwatirira abakyala naddala okubakuba ku kabina n’okubasiiya.

Kati ssinga omuntu akikola?

Mbeera mpulira nga njagala kumutaagula nga bw’olaba engo bw’ekola ekirungi mbadde sinnafuna ekikola musomese empisa z’omu bantu.

Mpulira ku UMCAT wasomerayo bannamawulire, oyagala kufuuka omu kw’abo ?

Kituufu njagala kuba munnamawulire. Ekitegeeza bakwesunge okukulabako ku ttiivi! Njagala nnyo okukolera leediyo kuba ninamu ensonyi eziyinza okunnemesa okutunula obulungi mu kkamera za Ttivvi ng’ate nnina eddoboozi erisobola okukola obulungi ku leediyo.

Kati ggwe alina ensonyi onoosobola okutunula mu maaso g’omulenzi wo ssinga olibeera omufunye?

Buli kimu tuyiga kiyige mu nsi era tomanya oba we ndimufunira ziribeera zaggwaamu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...