TOP
  • Home
  • Ssanyu
  • Twesange mu musomo gwa ssenga wa Bukedde

Twesange mu musomo gwa ssenga wa Bukedde

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2019

Twesange mu musomo gwa ssenga wa Bukedde

Watta 703x422

Bwe nkugamba nti oli mubalagavu mbeera nimbye?

Bwoba bwogambye siyinza kuwakana kuba bangi baking’amba naye ekitiibwa kiba kya Mukama.

Kati nno olaba otya ng’ompaddeyo akadde ne twogeramu ng’abantu abakulu?

Bwe biba bya mirimu sikirinaako buzibu.

Ofaayo ng’ompadde ku mannya go.

Nze Lanah Sophie nga mbeera Gayaza -Bulamu.

Ky’ogamba ne bwetubeera mu lumbe ne nzija nga nnoonya Lanah Sophie nkufuna?

Ago ga ku siteegi naye ag’olumbe onoonya Sophie Nambala Omufumbe eyakuyimbira akayimba ka Gwe Malayika.

Heeee obwedda njogera na ssereebu mulamba.

Yee ndi muyimbi wa nnyimba za mukwano naddala Zuku Music.

Kozzi oli mufumbo? Kati ogatta otya omuziki n’obudde bw’awaka?

Buli kimu nkiwa obudde bwakyo. Ekisooka omusajja yansanga ndi muyimbi era lwe mba nnina olulaga ntegeka mangu eby’awaka bwe ngenda ye n’akwasaganya ebisigadde ate ne ku mulimu gye nkola bakimanyi nti nnyimba.

Olyose n’oyogera ku by’omulimu obwedda mmanyi okola gwa kuyimba gwokka.

Bazadde bange banteekamu ssente ne nsoma obusawo era nnina Pharmacy gye nkolamu e Mpererwe.

Singa bukya omusajja n’akugamba okuyimba n’obufumbo olondeko kimu?

Muganda wange sisobola kulekawo kitone kyange kubanga ntobye nakyo ate gye ndaga ndabayo ng’ate n’omusajja asobola okukulemesa okukola ate n’alemwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa n’osigala kusiiwukira waka.

Tuwulira nti bamaneja olumu babafuula bakyala baabwe, gwe kikuyisa kitya eyo?

Nze sirina maneja, waliwo abannyambako ng’ali wamu n’omwami wange kwossa aba Gud Talent naye nze maneja bw’antunuza mu bitali mu ndagaano siyinza kumugumiikiriza kuba obwenzi bwannema ate si kirungi omukazi kweyambulira buli musajja.

Abawagizi bo kiki kye bayinza okukukola ne kikunyiiza?

Waliwo abalina omuze gw’okukwatirira abayimbi nga n’olumu batamidde. Nze kino kimpisiza ddala bubi era ngezaako okubeewala.

Omusajja omwenzi, omusajja kaggoggo n’oyo aboneka omulundi ogumu mu kisenge ogenda naaliwa?

Bonna nga tebagumiikirizika kuba omwenzi aleeta endwadde, kaggogo naye akutama n’oyo aboneka olumu awo abyesonyiye asinga!

Kiki omusajja ky’ayinza okukukola ne kimukutamya?

Omusajja asuulirira obuvunaanyizibwa bwe n’atuuka n’okundekera abaana n’agattako obwenzi awo ebyange naye bibeera bikomye n’abaana mbanoonyeza DNA endala.

Bubaka ki bwowa abakyala?

Bafube okwekolerera baleme kutunuulira basajja mpozzi n’obuteerabira kugenda mu musomo gwa Ssenga wa Bukedde nga August 31 ku Freedom City bagaziye okumanya kwabwe mu nsonga z’omukwano era Twesange mu musomo gwa ssenga wa Bukedde waakubaayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...