TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku basajja abakaka bakazi baabwe akaboozi

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku basajja abakaka bakazi baabwe akaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2019

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga olwo nga bamusalira.

Rape2 703x422

Omusajja ng'akaka omukazi akaboozi.

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga olwo nga bamusalira.
 
  • Omuntu ssinga asiba munne n’amuggalira mu bukyamu ng’alina ekigendererwaoba okumuwonya embeera embi gy’alimu abeera azzizza omusango era bwe gumusinga asibwa emyaka 10 oba okuwa engassi etekka wansi wa 5,000,000/- oba okukola ebibonerezo byombi.
  • Okutigaatiga ebitundu by’omubiri ebyensonyi ng’amabeere, ebisambi, oba okubiraga abantu abalala oba okubyogerako ng’olina ekigendererwa ky’okumuswaza osobola
  • Omuntu yenna ssinga akola ekintu ekiyamba okunafuya omuntu n’asobezebwako gamba ng’okukozesa kalifoomu asobola okuvunaanibwa era n’aweebwa ekinonerezo kya kusibwa emyaka musanvu okusibwa omwaka mulamba oba okuwa engassi ya mitwalo 48 oba okukola ebibonerezo byombi.
  • Omuntu yenna alina obuyinza bw’akozesa ofiisi ye okusendasenda omuwala okumwagala olw’okumusuubiza ebintu ng’okumuwa omulimu, okumukuza ky’okumusobyako bw’akwatibwa ne gumusinga asibwa emyaka musanvu.
  • Omuserikale ssinga asobya ku musibe oba n’abeerako engeri yonna gy’amusendasenda aweebwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka musanvu.
  • Okwegatta n’omuntu atannaba kwetuuka abeera azzizza omusango era asobola okusibwa emyaka 18.
  • Ssinga weegatta n’omwana atannaba kwetuuka nga tannaweza myaka 18, omwana aliko obulemu, ng’obadde olina obuvunaanyizibwa ku mwana okumulabirira, ng’obadde muzzi wa misango wa lulango, ng’omulinako oluganda oba eyakutte ng’alina obulwadde bwa siriimu bwe gukusinga osibwa obulamu bwo bwonna (okusibwa amayisa).
  • Omuntu yenna okuwa omwana atanneetuuka ekintu mu bukyamu oba okumulaga ekintu ekiraga obuseegu bwe gumusinga asibwa emyaka 10.
  • Omuntu yenna akkiriza omwana okubeera mu bwamalaaya ng’akimanyi oba n’akkiriza okuyingiza omwana mu bwamalaaya asibwa emyaka 10.
  • Omuntu ssinga anyumiza akaboozi mu kifo ng’abaana balaba oba okulaba abaana ebifaananyi by’abanyumya akaboozi asibwa emyaka 10.
  • Ssinga okwatibwa ng’obadde ogezaako okwegatta n’omwana atannaba kwetuuka bwe gukusinga osibwa emyaka musanvu.
  • Okuggyako ng’ofunye olukusa lwa kkooti tewali akkirizibwa kulaga mannya, endagiriro oba ekirala kyonna ekiraga omuntu asobezeddwaako. Kino kikwata n’amawulire era ssinga gukusinga osobola okutanzibwa emitwalo 24 oba okusibwa emyezi mukaaga oba okukola ebibonerezo byombi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...