TOP

Ng’enda kubeera musawo atasosola

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2020

FFIRIMU ki eyo gy’olaba ekututte ebirowoozo? Ekinsanyusizza okitegedde nti bwe mba ndaba ka “After” saagala anzigya ku mulamwa kuba ne bwenkalaba emirundi kikumi sikakoowa. Ofaayo bw’ombuulira ku mannya go? Nze Jemimah Nakiberu mbeera Ndejje

Ssanyu 703x422

Ng’enda kubeera musawo atasosola

FFIRIMU ki eyo gy’olaba ekututte ebirowoozo? Ekinsanyusizza okitegedde nti bwe mba ndaba ka “After” saagala anzigya ku mulamwa kuba ne bwenkalaba emirundi kikumi sikakoowa. Ofaayo bw’ombuulira ku mannya go? Nze Jemimah Nakiberu mbeera Ndejje.

Jemi ng’oli musanyufu wasemba ddi okukaaba? Nze nkaaba nnyo kati siyinza kukulimba ddi lwe nasemba.

Kintu ki ekiyinza okukukaabya n’omala olunaku lulamba? Kasita mbeera nga nnanyiizizza bazadde bange kinnuma kuba njagala nnyo okubeera nga ndi musanyufu nabo buli kiseera.

Ng’oggyeeko okufumbira bazadde bo emmere, okola mulimu ki omulala? Ndi muyizi ku ttendekero erimu mu Kampala era nsoma busawo.

Bw’onoomala okusoma n’ofuuka omusawo, kintu ki ky’otolikola? Nze sirisosola mu balwadde; omwavu n’omugagga njakubayisa kye kimu.

 

Olowooza lwaki abawala abamu balemwa okutuuka ku birooto byabwe oluusi ne batamalako na misomo gyabwe? Abawala okwagala ennyo ssente ezaamangu kibasudde ku bizibu era mbasaba bakomye okwagala eby’obwereere.

Abasajja abaganza abaana b’amasomero olowooza beetaaga kibonerezo ki? Ekikulu ndi mukyala mukkiriza ate Bayibuli tetukkiriza kusalira bantu bannaffe misango wadde nga nkivumirira.

Ng’oggyeeko okuseka kintu ki ky’otosobola kumalako lunaku nga tokirowoozezzaako? Buli lunaku ntwala akadde okusabira bazadde bange n’eggwanga lyange. Ku mubiri gwo kiki kye wandisabye Katonda akwongereko ssinga wabaddewo omukisa gw’okumusanga? Haaahaaa, nandimusabye annyongere ku ntumbwe.

Waηηambye oli mukyala mukkiriza, bwemba nga nkwagadde biki by’oyinza okusinziirako okunzikiriza? Mu byonna omuntu atya Katonda asinga abagagga abalina kalina era olina okuba ng’okulembeza Katonda wadde kati si kye kiseera ekituufu nkyali ku mulamwa gwa misomo.

Ng’enda kubeera musawo atasosola Birungi ki by’oyigira ku maama wo nga bw’olikula naawe ojja kufuba okulaba ng’abaana bo obibayigiriza? Ekisooka maama wange mukyala mukozi, mumalirivu ate alina empisa.

Ebyo byonna nkakasa mbirina era ne bwe ndiba nfunye abaana ndi bibayigiriza. Kale tumirayo abantu basatu.

Abayimbi ba kkwaaya ya Golden Gate ekulirwa taata wange Mw. Kizito, muganda wange Kizito ne mukwano gwange Trevor.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument

Mus13 220x290

Abadde asomesa abaana mu nkukutu...

Abadde asomesa abaana mu nkukutu Poliisi emukutte

Bel1 220x290

Bella, ono ye taata bulamu?

Bella, ono ye taata bulamu?

Nop1 220x290

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus...

Eno ennyambala nayo erwaza Coronavirus

Wet1 220x290

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke...

‘Ziza Bafana okudda engulu asooke ave ku bitamiiza