TOP

Lwaki obufumbo buyuuga nnyo mu myaka 10 ?

By Musasi Wa

Added 27th January 2015

ABANTU bangi batandika obufumbo ng’omukwano gwa bbugumu, naye gye beeyongera okubeera awamu, amasannyalaze agabasika okubeera bombi gatandika okuggwaawo.

2015 1largeimg227 jan 2015 121858690 703x422

ABANTU bangi batandika obufumbo ng’omukwano gwa bbugumu, naye gye beeyongera okubeera awamu, amasannyalaze agabasika okubeera bombi gatandika okuggwaawo. Ekiyinza okubayamba okubeera awamu,
ye buli omu okumanya nti yeetaaga munne mu mbeera ezitali zimu.

Mu kugattibwa mu maaso ga kabona, balayira nga bwe bajja okubeera awamu okutuusa okufa lwe kulibaawukanya. Wabula ebiseera bingi abafumbo beesanga ng’ebigambo bino bikoma ku kituutu ne batabiteeka mu nkola.

Okunoonyereza kulaga nti omuyaga gulumba nnyo abafumbo nga baakabeera bombi okumala emyaka wakati
wa 10 ne 15.

Patrick Lukandwa omukugu mu kubudaabuda abantu akolera mu Educational Consultancy and Applied
Counseling Services e Wandegeya yagambye nti abafumbo ebitundu 35 ku 100 abalayira okubeera awamu obulamu bwabwe bwonna, balemererwa okukituukiriza ne baawukanira mu kkubo.

Annyonnyola nti abafumbo bangi abaawukana oluvannyuma lw’okumala emyaka 10 n’okweyongerayo.

EMBEERA ENO EVA KU KI?

Lukandwa yagambye nti mu bulamu bw’abafumbo batandika okuzaala abaana. Abaana batondawo nnyo ggaapu wakati w’abafumbo. “ Omukwano guba mungi ng’abafumbo tebannazaala naye bwe bamala okufuna abaana omukwano mu kiseera kino baguzza ku baana okusinga bannaabwe.”

Agattako nti oluusi omukazi ayinza obutayagala musajja kunenya ku baana oba okubabonereza ekintu ekireetawo oluwonko olw’amaanyi wakati waabwe.Embeera eno bw’egenda ekula evaako n’okwawukana.

Ayongerako nti ebyenfuna nabyo bivaako nnyo embeera y’okusika omuguwa mu maka.

Lukandwa agamba nti famire bw’egenda egejja n’abaana okukula, obuvunaanyizibwa bweyongera embeera ereetawo obutakkaanya ku bintu ebisinga ekiyinza okuvaako okwetegula obuvunaanyizibwa
n’atambulamu.

Obuvunaanyizibwa obw’enjawulo omuntu bw’afuna nabwo buvaako obuzibu buno. Lukandwa agamba nti omuntu bw’alwa mu bufumbo, abantu batandika okumulaba ng’omuntu owoobuvunaanyizibwa ne batandika okumutikka obuvunaanyiibwa obutali bumu.

Bangi balondebwa ku nkiiko ezitali zimu nga ku masomero, ku kyalo, ku mulimu ne mu bifo by’obuvunaanyizibwa ebirala.
Mu kiseera kino obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya amaka ge butandika okusereba ekiyinza okuvaako munne
okumulaba mu ngeri endala.

Ettamiiro nalyo livaako nnyo okusika omuguwa. Abafumbo bangi bwe bagenda bakulana, awaka baba tebakyafunirawo ssanyu lituukiridde ne batandika okulinoonya mu bifo ebirala omuli n’ebirabo by’omwenge. Omuntu bw’aba teyamanyiira mbeera eno alemererwa okugigumiikiriza.

Bano abaagalana mbu bbo eby'okwawukana babiwula mu ngero

Empuliziganya wakati w’abaagalana okucankalana nayo evaako embeera y’okusika omuguwa. Mu kiseera kino omuntu alaba nga munne takyalina ky’amuyamba era nga takyamulabamu kipya.

Atandika okukola ebintu ebisinga nga tamwebuuzizzaako oluusi ekivaako okucankalana. 

Okwemanyiira. Abantu bwe bamala ebbanga nga bali wamu, ebintu ebimu bye baakolanga baba tebikyabatwalira budde kukola. Okugeza omukazi bw’aba yalinga akamulira munne akatunda, olwo ng’abivaako, takyamugololera n’ebirala eby’ekika kino. Mu mbeera eno bw’aba musajja ayinza okulowooza ku ky’okufunayo omulala anaabimukolera. Abenganda nabo bavaako embeera y’okwawukana mu bafumbo.

Omukazi bw’alwa mu bufumbo ebiseera ebisinga abooluganda lwa bba batandika okumulabamu ebituli n’okumulwanyisa. Omuntu bw’ayitirira okunyigirizibwa awalirizibwa okutambulamu.

ENGERI Y’OKUTANGIRA EMBEERA ENO

1 Okwogeraganya ng’abafumbo kikola nnyo mu kutangira embeera eno. Abafumbo balina okwogera ku nsonga ezibaluma n’omutima omuggule. Kino kibayamba okutangira embeera eyandiguddewo.

2 Obufumbo mubutambulize mu ddiini. Eddiini erimu amateeka agayamba abafumbo okutambulizaako
Obufumbo bwabwe n’okusigala ku mulamwa ebbanga lyonna. Ng’abafumbo mwemanyiize okusabiranga
awamu nga famire.

3 Mukkiriziganye ku by’okukola. Kya magezi abafumbo okukkaanya ku nsonga yonna nga temunnagiteeka mu nkola . Bwe kuba kuyingira byabufuzi, kuddayo kusoma oba ekintu ekirala kyonna mutuule wamu mulabe engeri y’okukitambuzaamu.
4 Omukwano gw’abaana tegubaziba maaso. Si kirungi muzadde omu kufuna ludda ku baana.

Ng’abazadde mulina okukwasiza awamu n’okugatta obuvunaanyizibwa mu ng’unjula y’abaana okusinga omuokwemalirira n’alabisa munne ng’atalina buvunaanyizibwa.

5 Yiga munno. Kya magezi omufumbo okufaayo okumanya munne by’ayagala ne by’atayagala buli bbanga. Kino kiyamba okubakuumira awamu mu mukwano.

6 Bw’osobya munno mwetondere. Okwetonda, okulaga okubonerera okuviira ddala ku ntobo y’omutima wamu
n’okulaga okweyoza omutima buli bbanga nsonga ekuumira omukwano mu bafumbo ne kibayamba okutambula obulungi ne bakuza abaana baabwe.
 

Ebireetera obufumbo okuyuuga mu myaka 10

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...