TOP

Omusajja alemeddwa okuzimba

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2019

Tumina abaana bataano naye tukyapangisa.Omusajja alemeddwa okuzimba, njagala kumuleka nfune omulala.

Tulina baana batano n’omusajja, naye tulemedde mu muzigo. Omwami wange afuna ssente kubanga alina boda bbiri naye ennyumba emulemye okuzimba. Ate nga tulina akabanja ke tusoboola okuzimbamu ennyumba. Nze ndi waka sikola kubanga abaana bangi nina okubalabirira. Kati Ssenga nfune omusajja omulala ono muleke n’abaana be?

Mbadde ndowoooza nti abaana abo naawe babo. N’ekirala bw’osalwo okufumbirwa omusajja olina okumanya nti ng’omusajja alina obunafu bwe era naawe nga bw’olina obunafu bwo. Olina okukkiriza nti oyo ye musajja gwe wasiima era mulina okuyita mu bizibu mwembi. Kigambo kuzimba nnyumba si kyangu nga bw’ogamba. Sigaanyi alina boda bbiri naye tomanya ayinza okuba nga ssente tamanyi kuzitetenkanya kulaba nti azimba. Abantu bangi n’abalina ssente ennyingi okuzimba kubalema. Noolwekyo ensonga eno gikwate mpola. Okusookera ddala abaana b’oyagala okulekawo naawe babo, era olina obuvunaanyizibwa ku baana abo. Ekirala kigambo kuzimba nnyumba naawe kikukwatako. Sigaanyi obuvunaanyizibwa bwa musajja okusinga naye tulina okuyambagana. Ennaku zino abakyala abalinga ggwe bazimbye amayumba. Olina okwebuuza amayumba bagazimbye batya? Ogambye nti ggwe obeera waka naye era waliyo abakyala ababeera awaka naye nga bazimbye amayumba. Abakyala bangi ennaku zino abalina bu bizinensi nga buli waka. Mwana wange mulina okuyiiya ne munno okuzimba kubanga ate n’ekibanja mukirina. Okufuna w’ozimba oluusi we wazibu naye musobola okuzimba mpola mpola. Ate musobola n’okuyingira ennyumba nga tennaggwa. Buli kintu kyetaaga buvumu era bw’olaba nga munno munafu mu nsonga emu oba endala ggwe olina okusitukiramu n’okola ekisaanidde.


 amaaka. Nkubira wongere okwogera kusonga enno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cana 220x290

Abakyala temusirikira ebibaluma...

Abakyala n’abaana bawereddwa amagezi obutasirikira ebibaluma mu maka ne mu bulamu obwa bulijjo

Kayihura avuddemu omwasi: 'Bankijjanya,...

OMUSASI wa Bukedde ayogedde ne Gen. Kale Kayihura ku kkoligo lye baamutaddeko obutaddamu kulinnya kigere mu Amerika...

Ssaavabugingonakiwala4 220x290

Nakiwala atadde ku Bugingo obukwakkulizo...

MINISITA w’abavubuka n’abaana, Florence Nakiwala Kiyingi atadde ku Paasita Aloysius Bugingo obukwakkulizo ku ngeri...

Lobe 220x290

Owa bbooda eyalaba eyatemula Nagirinya...

OWA boda eyavuganga ddereeva wa Nagirinya, Ssaalongo Ronald Kitayimbwa, ayogedde bwe yayitibwa poliisi y’e Katwe...

Twala 220x290

Kayihura nnatti za Amerika zimunyize...

GEN. Kale Kayihura alaajanye ku nnatti za Amerika, bw’ayise mu bannamateeka be ne bakola enteekateeka okusisinkana...