TOP

Lwaki abasajja baagala kaboozi ate abakazi baagala mukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Mu nsonga z’okwagalana, ensonga enkulu egatta ababiri gwe mukwano. Kyokka bwe kituuka ku kigenderwa ky’okwagalana wano we baawukanira. Abasajja bangi ekigendererwa kyabwe ekikulu mu mukwano kuba kwegatta kyokka ate abakyala beetaaga kwagalwa.

Buybaga1b 703x422

Bano baabadde mu kifo ekisanyukirwamu gye buvuddeko.

“Teebereza mu nnaku bbiri John ze yaakandabira buli kasimu k’akuba ayagala bya kwegatta..., kyokka sinnamanya na bimukwatako, ne mu mutima mpulira sinnamwagala..”, Olwo omuwala omu eyategeerekese nga Maria yabadde anyumiza munne bwe twabadde mu takisi ezidda e Ntinda.
Bano baalinnyidde Wandegeya era ennyambala yaabwe ng’eraga nti bayizi mu ttendekero erimu e Wandegeya.


Mu ddakiika bbiri nga baakakkalira mu takisi, essimu ya Maria yavuze, era bakira engeri gy’ayogeramu yabadde yeegayirira eyabadde amukubidde waakiri amuweeyo wiiki ng’emu nga yeerowooza.


Essimu olwagivuddeko, munne kwe kumunenya olw’okwegayiriza omusajja ate ng’akimanyi nti ennaku zino ba bbula. Yamugattiddeko nti, ‘ye bw’okkiriza olw’olumu olwo onoovaako ki, tolaba nga weesubya..?”
Mu nsonga z’okwagalana, ensonga enkulu egatta ababiri gwe mukwano. Kyokka bwe kituuka ku kigenderwa ky’okwagalana wano we baawukanira. Abasajja bangi ekigendererwa kyabwe ekikulu mu mukwano kuba kwegatta kyokka ate abakyala beetaaga kwagalwa.


Abasajja balina obwagazi bw’okwegatta bungi okukira abakazi era emirundi mingi omusajja okwegatta n’omukyala tekitegeeza nti amwagala. Bakikola lwa kwagala kumala kyetaago mu kiseera ekyo. Kino kyawukana ku bakyala kuba bbo okutuuka okwegatta n’omusajja kisooka kumuyingira mu bwongo n’atuuka okuwulira ng’amwagalidde ddala y’ensonga lwaki batera nnyo okusaba akadde nga tebannakkiriza bigambo bya musajja.


Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abantu mu nsonga z’amaka n’omukwano annyonnyola ekiviirako abasajja okwagala ennyo akaboozi okusinga abakazi.
1 Okunyumya akaboozi abasajja bangi kye batwala ng’obukakafu okuva eri omukyala nti amwagala. Omusajja bw’aba tanneegatta na mukazi takikakasa nti amwagala. Era abamu bamanyi n’okwefuula ng’omukazi amulwisizza okubaako ky’amukolera wabula ng’ekimukozesa ekyo alaba ng’amumalirako ebiseera n’okumuliira ssente ze okusinziira ku ndowooza y’ekisajja nga bweri.


2 Mu basajja akaboozi eringa emmere. Buli kiseera baagala kuba bakkufu. Okufaananako n’enjala y’emmere abaami balumwa enjala y’akaboozi era mu butonde bwabwe y’ensonga lwaki baagala okwegatta buli kadde nti ne bw’aba yaakeegatta ne wayita akaseera katono n’alaba omulala asobola okufuna obwagazi mu bwangu obwekitalo ekitali ku mukazi.


3 Akaboozi mu basajja kya kwesanyusa. Olw’okuba mu butonde bwabwe banguyirwa okutuuka ku ntikko, kibaleetera okwagala ennyo akaboozi kubanga bakimanyi nti baba bajja kutuuka ku ntikko eyo ate nga y’evaamu essanyu erisinga mu by’okwegatta. Ku ludda lw’omukazi alina kumala kuteekateeka bwongo bwe okugeza n’asooka afuna okwagala okwaddala eri omuntu gw’agenda okwegatta naye ne kiyamba omubiri gwe okweteekerateekera embeera eyo. Kale oluusi y’ensonga lwaki omukyala yeetaaga omukwano gumale kukula alyoke yeegatte n’omusajja kubanga singa akikola n’oyo gw’atayagala omubiri guyinza okugaana okweteekerateekera embeera n’abeera nga gwe bakase obukasi n’atuuka okuva mu kaboozi nga tafunyeemu.


4 Obwagazi bw’abasajja buli ku mubiri. Okwawunako n’abakyala nti obwagazi bwabwe buva ku bwongo oba ebintu bye bajjukira, obw’abasajja buli ku ngulu nti omubiri gwe gubatuma kasita alaba  ekimusanyusizza ng’olwo afuna enkyukakyuka mu mubiri gwe ng’atandika okuwankawanka nga yeetaaga kwegatta. 
5 Abasajja akaboozi bakatwala ng’ekyokubaddaabiriza mu bwongo. Omusajja buli lw’abaako ekimutawaanyizza mu bwongo okugeza ng’aliko ebimutawaanyizza mu lunaku akitwala nti okunyumya akaboozi kye kisobola okumuleetera okwerabira ebyo byonna.

OBWONGO BW’OMUSAJJA BULOWOOZA NNYO KU KWEGATTA
6 Obwongo bw’abasajja bwefumiitiriza nnyo ku by’okwegatta okwawukana ku bakyala. Omukyala nga yaakakwanibwa ky’asooka okufuna mu bwongo kwe kwebuuza oba ddala omuntu oyo by’ayogera bituufu era ebiseera bye ebisinga asobola okubimala nga yeekenneenya enneeyisa y’omusajja oyo n’okugoberera ebikolwa bye okusinziira ku by’azze amugamba.


Wabula bwe kituuka ku musajja olutunula ku mukazi ne bw’aba tannayogera naye ekisooka okumugenda mu bwongo kukuba bufaananyi nga bali mu buliri kwegamba ebiseera byonna by’amala ng’ayogereza omukazi obwongo bumubeera ku kaseera ako nga bakwataganye mu nsonga z’ekisenge.


7 Obwagazi bw’omukazi bulwawo nnyo okulinnya okusinga obw’omusajja. Kino kya butonde era kireetera nnyo omukyala obutanguyirwa kulowooza ku kaboozi ng’omusajja. Olw’okuba ekyabwe kiva ku bwongo kitegeeza nti alina okutwala akadde akawerako ng’akyakirowoozaako ate era mu mbeera eyo bw’amala okutuuka ku ntikko olwo ng’ebirowoozo bikkakkana era aba takyetaaga kwegatta nga bwekiri ku musajja kubanga ye amaanyi ge gamutimawa.


8 Obwongo bw’omusajja bubuutikirwa mangu nnyo ate ne bulwawo okudda mu nteeko. Kino kitegeeza nti omusajja singa atunula ku mukazi n’amusiima kino kisobola okumubeerako okumala ekiseera ekiwanvu ddala ekitali ku mukazi kubanga omukyala asobola okutunuulira omusajja n’amusiima kyokka akivaako mangu.


9 Emitima gy’abakazi olw’okuba minafu balina okutya kungi. Kino kitegeeza nti omukazi w’atuukira okukkiriza okwegatta n’omusajja alina kumala kukakasa nti tajja kumulumya ne kimuleetera okutwala ekiseera ekiwanvu okutuuka okwegatta n’omusajja. Kyokka  ku musajja olw’okuba balina emitima emigumu ennyo tebalinamu kya kulumwa era okwegatta bakitwala nti kyangu nnyo ekitasobola kubakosa mu mbeera yonna.


10 Abasajja baakolebwa nga basaale mu ky’okuzaala okwaza ensi. Eno nteekateeka ya Katonda ebaleetera okulowooza ku kwegatta emirundi mingi okusinga omukazi. Olw’okuba Katonda yabakola nga bavunaanyizibwa ku kuzaala buli lw’atunuulira omukazi alowooza ku kya kwegatta naye.


11 Omukyala yatondebwa n’ekigendererwa kya kubudaabuda. Kino kye kimuyisa omuzadde era y’ensonga lwaki alowooza kitono ku kwegatta okwawukana ku musajja olw’ensonga nti atya nnyo okulumizibwa n’okulumya.
Omukyala nga tannasalawo kwegatta alowooza ku kigenda okuvaamu oluvannyuma, ekitali ku musajja alowooza ku kwesanyusa essaawa w’akirowoolezzaako n’atalowooza binaddirira. Eno  y’ensonga lwaki bangi bamala okwegatta oluvannyuma ne beegaana embuto oba abaana.

ABASAJJA BEEFAAKO BOKKA
12 Abasajja balina obutonde bw’okusooka okwefaako. Kino kyeyoleka mu bintu ebiwerako, okugeza omusajja mu kaboozi asobola okutuuka ku ntikko n’atafaayo ku ky’okuleka omwagalwa we mu kkubo. Mu mbeera eno akaboozi bakitwala ng’ekyokwesanyusa gye bali wabula si eri bakyala baabwe kale kye bava bakiteekako ennyo essira kubanga bamanyi nti bafunamu nnyo.


13 Abasajja balina obutonde obutaliimu nsonyi. Kino kibanguyiza okwatula oba okulaga ekigendererwa kyabwe mu mukwano ekitali ku mukazi ng’oluusi omukyala ne bw’aba y’abadde asinga okwetaaga okwegatta ayinza obutakyogera n’alinda omusajja. Mu mbeera eno omusajja y’alina okutandika ekikolwa kale era ne kitwalibwa nti mu mukwano yeetaaga kaboozi.


 14 Abakazi okuyoya akaboozi oba okufuna obwagazi kiva ku kujjukira ebyamusanyusa ne by’alowooza mu kiseera ekyo. Wabula ku basajja, ky’alabako kye kimuleetera okucamuka, okugeza mu bavubuka bw’alaba omuwala n’amusanyusa, acamukirawo, ate mu basajja abakulu, okulaba ku bwereere bwa munne tekimuleka kye kimu. Kino kireetebwa omubisi gwa ‘testosterone’ oguli mu basajja ogubaleetera okucamuka.


15 Ku ludda lw’omusajja, akaboozi bakalaba nga bw’oyoya okulya ku kkeeki. Okugeza buli lwe yeegatta, mu bwongo mubaamu ekigamba nti leero kijja kuba kya njawulo. Era nga bw’olaba kkeeki nti zibaamu ebika, okugeza, ekoleddwa mu cokuleeti, ey’ebibala, erimu vanilla oba ‘strawberry’. Kino kitegeeza nti buli mulundi agutunuulira okufunamu ‘obuwoomi obw’enjawulo’. Era akaboozi abasajja bakanyumya ‘kukkuta’ nga bwe kibeera ku mmere eriibwa.


16 Mu ludda lw’omusajja, akaboozi y’engeri gy’alagamu munne omukwano. Buli lw’alowooza ku kaboozi kimuwa amaanyi n’obuvumu okwongera okukola ennyo nga bwe yeesunga munne okumusanyusa ng’amulabyeko.
17 Ku musajja akaboozi kye kimu ku bintu ebisinga okumunyumira kubanga mubaamu okuvumbula. Ate olw’okuba kimwanguyira okutuuka ku ntikko, kimwongera okunyumirwa buli kakodyo k’awulira nga kamukolera.

OMUKAZI BW’ACAMUKA KITEGEEZA NE LAAVU EBA EZZE
18 Ku musajja, akaboozi y’engeri gy’alagamu oba okuwa munne omukwano. Kasita alaba nga munne acamuse, olwo akitwala nti asanyuse era amulaze omukwano omujjuvu. Era abasajja abasinga tebakitegeera bwe babagamba nti beefaako bokka mu buliri. Kino kiri bwe kiti kuba akitwala nti ky’awulira mu kiseera ekyo ne munne ky’awulira.
Wadde abakazi bo basinga kusooka kukwatagana mu mutima n’oyo gw’ayagala, okusinga okwegatta, ku musajja okwegatta kyongera okumulaga nti omuntu oyo amwagala era amwesiga.

KU MUKAZI AKABOOZI KITUNDUKU BIKOLA OMUKWANO
19 Ku mukazi, akaboozi kimu ku bikola omukwano, naye si gwe mukwano. Omukazi akaboozi akalaba ng’ebintu ebirala ng’okwogeraganya, okubeerako mwembi awutu, okukolera awamu, okuddukanya amaka, okusiimibwa, okugendako mu luwummula, okugaba n’okufuna ebirabo n’ebirala. Kino kitegeeza nti akaboozi kitundu butundu ku mukwano, wabula si ke kalaga omukwano.


Dokita Abdu Sekanwagi agamba nti; omusajja okuba ng’ayagala nnyo okwegatta okusinga omukazi kiva ku kirungo ky’omubiri ekitiibwa “testosterone” nga kino kye kivunaanyizibwa ku kufuula omusajja okubeera omusajja era nga kye kifuga n’obwagazi mu mubiri gwe.


Ekirungo kino kikulu mu mubiri gw’omusajja yenna kubanga kye kikola ku mubiri gwe okukola obutoffaali bw’omubiri wamu n’enkwaso z’omusajja.
Ekirungo kino buli lwe kikendeera mu mubiri gw’omusajja, obwagazi buba butono. Ekirungo kino kigenda kikendeera omusajja bw’agenda akula. Mu bavubuka kiba kingi ddala, wabula bw’agenda akula n’atuuka mu myaka gy’ekikadde kiba kikendedde.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...

Ababbi balumbye Klezia ya Yowana...

ABABBI basatu balumbye ekifo awaterekebwa ebirabo ku Klezia ya Yowana Maria Mzee ku Lubaga Road n’amajambiya nga...

Abtexbajjohoima 220x290

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose...

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango...

Joycenakiryannamwanduwakasoziabaanabeyazaalagwebagobawebuse 220x290

Abaana bagobye nnyaabwe mu maka...

Abaana bafuuyidde ebirime bya nnyaabwe n'okumugoba awaka okutuusa ng'abawadde ekyapa kya kitaabwe

Kazimba8webuse 220x290

Ssaabalabirizi omulonde Dr. Stephen...

Ssaabalabirizi omulonde, Dr. Stephen Kazimba asuubizza okusigala ng'assa ekitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda