TOP

Omukazi sikyamumatiza

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2019

Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nga nze nmina 75. Mukyala wange omukulu yafa. Kati Ssenga omukyala ono atandise okwagala abasajja ku kyalo naye obunafu bwange mbumanyi. Nkoze ntya mugobe nfune omukyala omulala. Kubanga waliyo omukyala omulala naye namwandu ayinza okusobola embeera yange.

Ndi musajja mukulu ddala era n’abaana bange bakuze. Naye kigambo kwegatta kigaanyi. Amaanyi nnina matono ate omukyala gwe nafuna muto ddala alina emyaka 35 ate nga nze nmina 75. Mukyala wange omukulu yafa. Kati Ssenga omukyala ono atandise okwagala abasajja ku kyalo naye obunafu bwange mbumanyi. Nkoze ntya mugobe nfune omukyala omulala. Kubanga waliyo omukyala omulala naye namwandu ayinza okusobola embeera yange.

Abantu bangi tebeepimira myaka. Omusajja yenna bw’okula oba omukyala bw’okula ebiseera ebisinga weetaaga omuntu anaakutegeera.

Era ebiseera ebisinga omuntu oyo abeera mu myakgyo oba ng’alina ebirowoozo ebikulu. Kati mwana wange oli mutuufu mu butonde omusajja bw’okula amaanyi g’ekisajja gakendeera.

Era oyinza obutasobola kumatiza omuwala omuto oba mukyala muto. Kati mukulu munnange newankubadde oyagala kufuna mukyala mukulu anaakutegeera naye jjukira nti olina bwe watuukako n’abazadde b’omuwala oba omukyala gw’olina.

Okwawukana ogenda kubagamba otya? Okuggyako ng’omukyala ono wamufuna ku kkubo. Nsuubira wamufuna ng’olowooza nti agenda kumala ebizibu byo.

Naye ate mu biseera byaffe ebisembayo weetaaga okufuna omuntu akuyambako naddala abasajja mwetaaga omubeezi ddala. Kati n’ekirala oba omukyala ono ayagala abasajja ku kyalo ddala olina obukakafu ku nsonga eno. Kubanga oba olina obukakafu ekyo kigobya omukyala.

N’ekirala ono gw’oyagala okuleeta ddala omwetegerezza ng’anaasobola okubeera naawe. Nsuubira olina abaana era naye alina abaana banaakitwala batya ng’oleese omukyala ono mu bintu bya maama waabwe.

Omukyala ono mwetegeefu okubeeramu nga omubeeziwo? Weetegereze. nga tonnasalawo.

Kubanga mwana wange bino byoona olina obitunulira tomaala galonda lond omuntu omutuffu.

Webuuze kubantu abalala ebikwata kumukyala ono. Byebyo mwana wange topapa kugobba mukyala nga tolina nsonga ate sooka wetegereze gwoleeta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup